TOP

Omutendesi Micho Sredojevic agenda

Added 24th July 2017

EGGULO, omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic yatutte omumyuka we Moses Basena ku kijjulo ku kirabo ky'emmere ekimu mu Kampala okumwebaza okukolagana naye obulungi okumala ebbanga lye bamaze nga bakola bombi n’okumusiibula kuba omupiira Cranes gwe yazannye South Sudan ku Lwomukaaga mu CHAN, gwe gwabadde gusemba okubeera bombi.

 Micho

Micho

Oluvannyuma lw’ekijjulo, Micho yagenzeeko mu kifo awakuumirwa abaana abatalina mwasirizi ekya Sanyu Babies Home n’agabira abaana ebikozesebwa okwebaza Katonda okumusobozesa okukola obulungi ku Cranes n’agitwala mu z’Afrika ze yali emaze emyaka 38 nga tekiika.

Bukedde bwe yayogeddeko naye, Micho yagambye nti, “Tumaze ebbanga ddene ne Basena nga tukola nga tetwewaamu. Bwe muba ku ttiimu tewaba kaseera ka kuwummula na kubaako bye mwegeyaamu ebitali bya mupiira. Kano ke kaseera ke tusazeewo tweweemu,” Micho alangirira leero: Leero, Micho lw’asuubirwa okulangirira mu butongole ekiddako ku biseera bye mu Cranes.

Yabadde waakukikola ggulo wabula olw’okuba yabadde alina okusooka okusisinkana pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo ataabadde mu ggwanga kwe kusalawo akikole leero ng’akafubo kaabwe kawedde.

Ensonda zaategeezezza nti Magogo yabadde ayagala kuperereza Micho asigale ng’agamba nti eky’okusuulawo ttiimu si kya bwenkanya kuba akyalina endagaano ate nga n’okugimuwa yali ye (Magogo) ye yasalawo ng’omuntu ng’abakungu bonna bamusimbidde ekkuuli.

Endagaano ya Micho eggwaako mwaka gujja kyokka okusinziira ku Micho, FUFA yagimenya dda era wa ddembe okugenda.

Bukedde bwe yayogeddeko ne Micho ku ky’okuva ku ttiimu n’ekya Magogo okumuperereza asigale, yagambye nti yakoze dda okusalawo era takyasobola kukyusa.

“Eky’okukyusa ebirowoozo obutangenda kizibu kuba namaze okusalawo. Magogo ng’enda kumusisinkana ku bintu birala nnyo,” Micho bwe yategeezezza eggulo.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yakakasizza nga bwe bagenda okusisinkana Micho leero ku ssaawa 5:00 balabe ekiddako.

Yayongeddeko nti eky’okugenda kwa Micho tebalina kye bakumanyiiko kuba akyalina endagaano yaabwe ate talina kye yali abagambyeko ku nsonga eno.

“Tewali kabonero konna kalaga nti Micho agenda kuba tewali buzibu buli kimu kiri bulungi,” Hussein bwe yannyonnyodde.

Yagasseeko nti buli Cranes lw’emala omupiira wabaawo ensisinkano ng’eno era Micho bw’anaaba n’ensonga w’anaagyogerera.

Omu ku bamyuka ba Micho, yategeezezza nti eggulo oluvannyuma lw’omupiira Micho yamutegeezezza nti alina ttiimu gy’agendamu era yatendese Cranes omupiiira ogusemabayo.

Kigambibwa nti Micho abanja FUFA emyezi ena nga y’emu ku nsonga emuwaliriza okugenda.

Omumyuka wa Micho ayogedde:

Omu ku bamyuka ba Micho yategeezezza ng’ogwa South Sudan guwedde.

“Yatutegeezezza nti obudde bwonna agenda wabula n’atatubuulira lwaki agenda na wa gy’alaga.

Yatugambye nti tugenda kumusisinkana atubuulire ebisingawo n’okutubuulira ekiddako atusiibule mu butongole,” Omu ku bamyuka bwe yategeezezza.

Wadde Micho agamba nti agenda, waliwo abagamba nti yandiba ku kakodyo k’okutiisatiisa FUFA emusasule omusaala gwe mu bwangu.

Buli Cranes lw’ebaddenga n’omupiira ogw’amaanyi Micho abadde atiisatiisa okugenda.

Nga Cranes yaakamala okuyitawo okugenda mu z’Afrika e Gabon, Micho yatiisatiisa okukuba FUFA mu mbuga nti eruddewo okumusasula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu