TOP

Police eguze 11 n'ebatuma ekikopo

Added 26th July 2017

AKULIRA Police FC, Asan Kasingye asabye omutendesi Abdallah Mubiru okwongera okulinnyisa omutindo gwa ttiimu sizoni eno, basobole okuwangula ku bikopo.

 Kasingye (owookubiri ku kkono) ng'ayanjula abazannyi. Owookubiri ku ddyo ye Mubiru ne Edward Ochom (mu byambalo bya poliisi), omumyuka wa Kasingye.

Kasingye (owookubiri ku kkono) ng'ayanjula abazannyi. Owookubiri ku ddyo ye Mubiru ne Edward Ochom (mu byambalo bya poliisi), omumyuka wa Kasingye.

Bya HUSSEIN BUKENYA

AKULIRA Police FC, Asan Kasingye asabye omutendesi Abdallah Mubiru okwongera okulinnyisa omutindo gwa ttiimu sizoni eno, basobole okuwangula ku bikopo.

Kasingye, era nga ye mwogezi wa poliisi mu ggwanga, yabadde ku ttendekero lya poliisi erya Police Training School e Kibuli ku mukolo gw'okwanjula abazannyi 11 abeegasse ku ttiimu eno.

“Sizoni ewedde, puleesa katono zitukube nga tulaba ttiimu tekola bulungi, naye ku mulundi guno tusuubira birungi byereere kuba tuleese abazannyi abalungi era basobola okuvuganya ku kikopo,” Kasingye bwe yategeezezza.

Mubiru eyawonya ttiimu eno okusalwako sizoni ewedde, yeeyamye okulwana okulaba ng'ebyaliwo tebiddamu. Mubiru yeegatta ku ttiimu eno mu makkati ga sizoni ewedde n’emalira mu kifo ky'e 13.

Abazannyi abaayanjuddwa kuliko; Juma Balinya, eyavudde mu Lweza, Simon Tamale, Albert Mugisa (Ndejje), Sam Kayongo (Kiira United), Shakur Makeera (Nkumba University), Norman Ojik ne Saafi Basan (Sadolin).

Abalala ye Martin Mpuuga, Yasin Mugume, Paul Willa ne Aggrey Madoi eyavudde mu Vipers ku looni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...