TOP

Abaddusi 20 bagenda London

Added 26th July 2017

Abaddusi baakutendekebwa Gordon Ahimbisibwe owa UPDF ng’amyukibwa Abayitale Guiseppe Giambrone n’omusawo wa ttiimu, Veronica Sampieri.

 Nanyondo lwe yawangula omudaali gw'ekikomo mu mizannyo gya Commonwealth mu Glasgow ekya Scotland mu 2014.

Nanyondo lwe yawangula omudaali gw'ekikomo mu mizannyo gya Commonwealth mu Glasgow ekya Scotland mu 2014.

Bya TEDDY NAKANJAKO

Joshua Cheptegei waakulumba emidaali ebiri mu misinde gy’ensi yonna mu mpaka za 'IAAF World Championsips' ezitandika ku Lwokutaano lwa wiiki ejja, mu kibuga London ekya Bungereza. Empaka zaakuzannyibwa wakati wa August 4-13.

Okusinziira ku lukalala olwafulumiziddwa akakiiko ky'ebyekikugu mu kibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga ekya UAF, ttiimu eriko abaddusi munaana abaakiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics egyali mu Brazil omwaka oguwedde.

Abaddusi baakutendekebwa Gordon Ahimbisibwe owa UPDF ng’amyukibwa Abayitale Guiseppe Giambrone n’omusawo wa ttiimu, Veronica Sampieri.

KIPROTICH AZISUBIDDWA

Kyampiyoni w'emisinde gy'okwetooloola ebyalo mu 2013, Stephen Kiprotich yasuuliddwa oluvannyuma lw’okutegeeza nti tajja kusobola kuba tali ku ffoomu.

Abalala abatagenda kwetaba mu misinde gino kuliko; Adero Nyakisi (mulwadde), Jackson Kiprop, Moses Kurong ne Sam Cherop.

EY'ABATO EWANGUDDE OMUDAALI:

Mu kiseera kye kimu, abaddusi abasatu abeetabye mu mizannyo gy'abato egya Commonwealth Youth games ekomyewo n’omudaali gwa zaabu ogwawanguddwa Josephine Joyce Lalam (16) akanyuga olunyago.

Lalam yakoze mmita 51.86 mu mizannyo gino egyakomekkerezeddwa ku Ssande mu kibuga Nassau ekya Bahamas.

Sarah Chelangat yakutte kyakuna mu mmita 3000 ate mu mmita 1500 n'amalira mu ky'e 10.

Omuwuzi Ogola Atuhairwe naye yamalidde mu kya 10 mu mmita 200 eza Freestyle.

 Abaalondeddwa mu basajja

Abu Mayanja - mmita 800

Ronald Musagala - mmita 1500

Jacob Araptany - 3000mSC

Boniface Sikowo - 3000mSC

Albert Chemutai - 3000mSC

Stephen Kissa - mmita 5000

Jacob Kiplimo - mmita 5000

Joshua Cheptegei - mmita 5000/10000

Timothy Toroitich - mmita 10,000

Solomon Mutai - Marathon

Robert Chemonges - Marathon

Chesakit Alex - Marathon

Abakazi:

Halima Nakaayi - mmita 800

Winnie Nanyondo - mmita 800

Dorcus Ajok - mmita 800

Esther Chebet - mmita 1500

Peruth Chemutai - 3000mSC

Mercyline Chelangat - mmita 5000

Stella Chesang - mmita 5000

Juliet Chekwel - mmita 10,000

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...