TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • MICHO; Eya South Afrika emusabye agende n'omuzibizi wa Cranes

MICHO; Eya South Afrika emusabye agende n'omuzibizi wa Cranes

Added 27th July 2017

“Sinnavaawo kyokka era sikakasa nti wendi. Singa FUFA enansasula, nja kukomawo ntwale omulimu gwange mu maaso,” Micho bwe yategeezezza.

 Micho mu kutendeka gye buvuddeko

Micho mu kutendeka gye buvuddeko

Bya HUSSEIN BUKENYA

NGA Micho Sredojevic, alinda ebiva mu nteeseganya wakati wa kitunzi ne FUFA ku by’okusigala ne Cranes, amawulire agalaga nti ku Lwokubiri lwayanjulibwa mu Orlando Pirates eya South Afrika. Okusinziira ku mikutu gy’amawulire egy’e South Afrika okuli ogwa www.timeslive.co.za ne www.soccerladuma.co.za, eggulo gyategeezezza nti Micho ali mu nteeseganya ezisembayo n’abakungu ba Orlando Pirates era nti wiiki ejja lwe bagenda kumwanjula ng’omutendesi waabwe.

Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, Micho yasitudde n’agenda mu Ethiopia kyokka nga tannagenda, yasoose kusisinkana bakungu ba FUFA n’abategeeza nga bwe yafunye ttiimu endala gy’agenda okutendeka.

Mu nsisinkano eno, enjuyi zombi tezakkaanyizza era ensonga ne bazikwasa Edgar Watson, akulira emirimu mu FUFA ne kitunzi wa Micho.

Wabula kigambibwa nti kino Micho yakikoze ng’ayagala kweggyako FUFA.

Amawulire g’e South Afrika gaalaze nti ku wiikendi eno Micho lw’asuubirwa okutuuka e South Afrika okumaliriza emisoso gyonna nga bw’alindirira okwanjulwa eri abawagizi ba Orlando Pirates ku Lwokubiri.

AGENDA NE MURUSHID JUUKO

Ensonda zaategeezezza nti abakungu ba Orlando baasabye Micho okugenda n’omuzibizi ow’omuzinzi era n’asemba Murushid Juuko nti y’alina obumannyirivu okuduumira ekisenge kya Orlando Pirates ekibaddemu ebituli sizoni ewedde.

Orlando Pirates, sizoni ewedde yamalira mu kifo kya 11 so nga ne ku fayinolo ya Nedbank Cup yakubwa SuperSport United (4-1). Juuko, eyali ne Cranes mu mpaka z’Afrika e Gabon mu January w’omwaka guno, ali mu Simba eya Tanzania wabula kigambibwa nti waakusitula ku wiikendi eno okugenda mu South Afrika okuteesaganya ku ndagaano ye ne Orlando.

Nga yaakatuuka mu Ethiopia, Micho yategeezezza nti tannasuulawo Cranes wabula yagenze kuwummulamu okumala ennaku biri nga bw’alinda ekinaava mu nteeseganya za FUFA ne kitunzi we ezigenda mu maaso.

“Sinnavaawo kyokka era sikakasa nti wendi. Singa FUFA enansasula, nja kukomawo ntwale omulimu gwange mu maaso,” Micho bwe yategeezezza.

Endagaano ya Micho eggwaako mwaka gujja wabula agamba nti FUFA yagimenya olw’okulemwa okumusasula emyezi ena gy’abanja.

Micho, yatendekako Orlando mu 2006, era singa addayo, ajja kusikira Kjell Jonevret.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...