TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Desire Luzinda azinye 'Ekitone' n'omugagga Lwasa enduulu n'evuga

Desire Luzinda azinye 'Ekitone' n'omugagga Lwasa enduulu n'evuga

Added 29th July 2017

OMUYIMBI Desire Luzinda taggwayo, abadigize olusabye oluyimba lw’ekitone n’ayita Omugagga Emmanuel Lwasa bazine bombi.

Luzinda ng'ayimba n'okuzina n'omugagga Lwasa. EBIFAANANYI BYA MARTIN NDIJJO

Luzinda ng'ayimba n'okuzina n'omugagga Lwasa. EBIFAANANYI BYA MARTIN NDIJJO

Luzinda yasoose kubuuza bantu luyimba lwe baagala nga baleekanira waggulu era bamuzzeemu nti ‘Ekitone’ wano naye kwe kubagamba nti “Ate bwe nkifulumya nga munvuma kati mwagala ki? Mu bwangu yayise omugagga Lwasa ku muzindaalo nti “Wama mwami Lwasa jangu munnange batwogerere amafuukule tubalage…..” enduulu n’evuga.

Bano baabadde ku mukolo ogw’okuggulawo mu butongole ‘Club Tavern Kick’ ekya Lwasa ekimu ku bifo eby’omulembe ebisanyukirwamu e Masaka era minisita Godfrey Kiwanda eyakiikiridde omumyuka wa pulezidenti w’eggwanga yasiimye omulimu ogukoleddwa.

AB’E MASAKA BATTUNSE N’AB’E KAMPALA

Wadde omukolo gwabadde Kyabakuza mu Masaka, kino tekyalobedde bagagga b’omu Kampala n’abavubuka abamanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu okwabadde n’ebyana biwala ebyamyuka entumbwe okulumba.

ABAYIMBI BATUNSE

Abayimbi okwabadde; omubaka Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), David Lutalo, Desire Luzinda, Winnie Nwagi, King Saha, Gravity Omutujju, Roden Y Kabako, Evelyn Lagu n’abalala ssako bakazanyirizi abakulemeddwamu Madrat & Chiko be basanyusiza abantu era obwedda buli akwata akazindaalo oba okulinnya ku siteegi afuba okukakasa abantu nti y’asinga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabira

Ebyapa bya bbanka ezaggalwa...

OMUKUNGU wa bbanka enkulu Benedict Ssekabira ayolekedde okukwatibwa olw'okuziimula simanisi za poliisi okwennyonnyolako...

Emma Carlos, Kaye Wisdom, Hannington Bugingo , Anita Sseruwagi, Charles Bakkabulundi ne Emma Carlos.

Abayimbi balaze ekiddako ku...

OMUBAKA w’abakozi era eyali Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi akung’anyizza abayimbi, bannakatemba...

Omugenzi Kakai (ku kkono) ng’ali ne famire ye.

Ebizuuse ku yasse owa IHK

OMUSAJJA eyasse omusawo w'eddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abadde amaze ebbanga ng'amwewerera...

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...