TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Busiro, Gomba, Singo ne Buddu zeesozze semi z'amasaza

Busiro, Gomba, Singo ne Buddu zeesozze semi z'amasaza

Added 30th July 2017

Busiro , Gomba, Buddu ne Singo ge masaza agaayiseemu okwesogga semi za 2017 mu nsiitaano ku bisaawe ebitali bimu.

 Omuzibizi wa Busiro Michael Owinyo  (ku kkono) ng'atangira omuteebi wa Kooki Muhammad Matovu mu luzannya lwa kwota olwokubiri e Sentema. Busiro yawangudde ggoolo 2-0 July 29 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Omuzibizi wa Busiro Michael Owinyo (ku kkono) ng'atangira omuteebi wa Kooki Muhammad Matovu mu luzannya lwa kwota olwokubiri e Sentema. Busiro yawangudde ggoolo 2-0 July 29 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Busiro 2 Kooki 0

Gomba 2 Bulemeezi 1

Buddu 1 Mawokota 1

Bugerere 1 (1) Singo 0 (3)

Busiro , Gomba, Buddu ne Singo ge masaza agaayiseemu okwesogga semi za 2017 mu nsiitaano ku bisaawe ebitali bimu.

Ttiimu zonna zibadde mu luzannya lwakudding’ana.

Busiro yasinzidde ku butaka e Sentema okuggyamu Kooki ku ggoolo 2-0 n’eyitiramu ku ggoolo 2-1 omugatte nga mu gwasooka ne Kooki yeeyambisa ekisaawe ky’oku butaka okuwangula Busiro 1-0.

Ggoolo ya Gerald Maido ne Brian Kasule mu ddakiika eya 47 ne 50 ze zannyogozza Kooki wabula ng’erina okwevuma okusambi Emmanuel Lubanga Kene eyalemeddwa peneti eyabadde ebayisizaamu ku ggoolo y’oku bugenyi.

Omutendesi wa Busiro Paul Kiwanuka nga yeetaasa ku bawagizi abaabadde bamuyozaayoza okuwangula Kooki e sentema 2-0 mu luzannya olwokubiri ku kwota z'amasaza July 29 2017.(ekif:Silvano Kibuuka)

Gomba nayo yasinzidde ku butaka e Kabulasoke okuggyamu Bulemeezi 2-1 nga mu gwasooka baalemaganira e Kasana 0-0.

Wabula Bulemeezi yafiiriddwa wabiri abawagizi baayo abasoba mu bataano bwe baafiiridde mu kabenje n’abalala bangi ne basigala nga bataawa bwe baabadde bagenda okuwagira ttiimu yaabwe e Kabulasoke.

Buddu abalina ekikopo nabo baayiseemu bwe baagudde amaliri ne Mawokota 1-1 wabula Buddu n’eyitiramu ku ggoolo mu luzannya olwasooka.

Yo Bugerere yalemeddwa okukuba peneti Singo n’egiggyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...