TOP

Ekinyomo kigobeddwa mu mpaka z'ebika lwa kuzannyisa bacuba

Added 9th August 2017

EKIKA ky'Ekinyomo kiggyiddwa mu mpaka z’ebika by’Abaganda eza sizoni eno lwa kuzannyisa bacuba bwe kyali kizannya n’Ennyonyi ya Nakinsige mu mupiira ogwaggwa 2(4)-2(3) mu penati.

 Ttiimu y'Ekinyomo eyagobeddwa mu gy'Ebika

Ttiimu y'Ekinyomo eyagobeddwa mu gy'Ebika

BYA JOSEPH ZZIWA

Omutendesi wa Nakinsige, David Kyeyune yaloopa mu kakiiko akaddukanya ebika ng’agamba abazannyi ababiri baazannyira mu mannya agaatali gaabwe nga kuno kwaliko eyazannya nga Julius Ssennyoma ng’aga ddala ye Shaban Wasswa ne George Ssennyomo ng’agaddala ye Shafiq Matovu, bonna batuuze mu Nnyendo - Masaka.

Oluvannyuma lw’akakiiko okutuula eggulo ne beekkenneenya obujulizi, kyakakasiddwa nga ddala Ekinyomo omusango gwakisinze.

Omuwandiisi w’akakiiko, David Kalibbala yakakasizza nga Nakinsige bw’eyiseewo nga yaakuttunka n’Olugave nga 17/8/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...