TOP

Abatwala ensonga z'omupiira mu kkooti bali ku byabwe-Magogo

Added 10th August 2017

“Ebirungi ebyatuukiddwaako mu kisanja ekiwedde kyabadde kituuza era kati byafaayo._Magogo

 Magogo

Magogo

"EBYOBUFUZI byawedde, kati kiseera kya kukolera mupiira, Bannayuganda bagunnyumirwe,”

Bino bye bimu ku bigambo pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo bye yatandise nabyo mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yasoose okutuuza oluvannyuma lw’okulangirirwa okudda mu kifo kino mu kisanja ekipya.

Magogo, eyalangiriddwa ku Lwomukaaga ku kifo kino, yategeezezza nti kati amaanyi gonna agatadde ku kuddukanya n’okutumbula emirimu gya FUFA.

“Ebirungi ebyatuukiddwaako mu kisanja ekiwedde kyabadde kituuza era kati byafaayo.

Mu kino, kigenda kusukka era nsaba abantu batuwagire mu nteekateeka ezijja,” Magogo bwe yagasseeko.

Mu ngeri y’emu, Magogo yalabudde abatwala ensonga z’omupiira mu kkooti za bulijjo obutakiddira kubanga tebalina kirungi kye bagenda kufunayo.

“Amateeka ga FIFA gakirambika bulungi nti afuna obutakkanya, alina kugenda mu kkooti ya FIFA so ssi za bulijjo.”

Mu lukung’aana lwe lumu, Magogo yayanjudde enteekateeka empya omuli okuddiza ebitongole bya FUFA amaanyi n’obuyinza okukola ku nsonga ezibikwatako, okuwa abatendesi ba Cranes n’abakozi ba FUFA emisaala emisava, okuwa bazannyi ba Cranes abawummudde akasiimo n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...