TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes yeesozze enkambi okwetegekera ogw'okudding'ana ne Rwanda

Cranes yeesozze enkambi okwetegekera ogw'okudding'ana ne Rwanda

Added 15th August 2017

OKUWUMMULA ssi kutuuka, Uganda Cranes yazzeemu eggulo okwesogga enkambi okutendekebwa nga yeetegekera omupiira ogw’okuddingana ne Rwanda ku luzannya olusembayo mu z’okusunsulamu ez’empaka za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya.

 Derrick Nsibambi eyateebye ggoolo ya Uganda ey'okusatu (ku kkono) ng'attunka Aimable Nsabimana owa Rwanda okumusuuza omupiira mu gw'oluzannya olusooka ku luzannya olusembayo mu z'okusunsulamu za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya. Uganda yawangudde 3-0. (STEPHEN MAYAMBA)

Ku Lwomukaaga  August 19

Rwanda –Uganda e Kigali

OKUWUMMULA ssi kutuuka, Uganda Cranes yazzeemu eggulo okwesogga enkambi okutendekebwa nga yeetegekera omupiira ogw’okuddingana ne Rwanda ku luzannya olusembayo mu z’okusunsulamu ez’empaka za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya.

Uganda Cranes yawangudde ogw’oluzannya olusooka gwe yakyazizza ku ggoolo 3-0 mu kisaawe kya St. Mary’s stadium e Kitende ku Lwomukaaga.

Kati yetaaga kulemagana kwonna okuyitamu okugenda okuzannya mu z’akamalirizo ezeetabwamu abazannyi abazannyira mu liigi z’awaka.

Rwanda ne bw'eba ewangudde kasita tesussa ggoolo 2-0 era Uganda eba eyitamu butereevu.

Oluvannyuma lw’okuwummulamu olunaku lumu (olwa Ssande) abatendesi; Moses Basena ne Fred Kajoba eggulo ku Mmande bazzeemu buto okubangula abazannyi e Lugogo ku Star Times Stadium, amaka ga KCCA FC ku kisaawe eky’ekiwempe nga beetegekera omupiira ogugenda okuzannyirwa mu Nyamirambo Stadium, nakyo eky’ekiwempe. ​

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...