TOP

Cranes;Basena atandikiddewo okwetegera World Cup

Added 22nd August 2017

Mu za World Cup (August 31): Uganda - Misiri e Namboole MISIRI y’emu ku ttiimu mu Afrika ezikyasinze okujojobya Uganda kumpi mu mpaka zonna.

 Abazannyi ba Cranes abaatandise omupiira gwa Rwanda.

Abazannyi ba Cranes abaatandise omupiira gwa Rwanda.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Mu za World Cup (August 31): Uganda - Misiri e Namboole MISIRI y’emu ku ttiimu mu Afrika ezikyasinze okujojobya Uganda kumpi mu mpaka zonna.

Ettunka ne Cranes nga August 31 e Namboole mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2018 e Russia, ate baddiηηane oluvannyuma lw’ennaku ttaano nga September 5, Misiri y’ekulembedde ekibinja Erina obubonero 6 ng'etunuulidde kuwangula Uganda enzannya zombi, yeenywereze ku ntikko ku bubonero 12.

Wabula ne Uganda yeetaaga obuwanguzi egende ku ntikko n’obubonero 7 nga bw'erinda ogw’okuddιηηana, mu kisaawe kya Borg El Arab Stadium ekisangibwa mu kibuga Alexandria.

Cranes yasemba okuwangula Misiri mu 1965. Okumanya Misiri eyagala obuwanguzi buno, yasindise abantu okuketta enkambi ya Cranes, n’okufuna ebifo ttiimu yaabwe w'eneekuba enkambi.

Kigambibwa nti nga baakatuuka muno, abakungu baakizudde nti ekisaawe ky'e Namboole tekiri ku mutindo gwe beetaaga, ne basaba FUFA n'abakitwala okubakkiriza okukiyooyoota era ensonda zigamba nti omulimu guno baagutandikiddewo.

Mu nteekateeka eno, era omutendesi waayo (Misiri), Hector Cuper yamaze dda okuyungula bapulo 15 abakulembeddwa Mohamed Salah (Liverpool) ne Mohamed Elneny (Arsenal), nga kuno kwe yagasse abaguzannyira awaka abalala 15.

Kyokka Bukedde bwe yatuukiridde maneja w'ekisaawe kino, Jamil Ssewanyana yasambazze ebya Misiri okuba nga y'ewomye omutwe mu kuyooyoota Namboole, n'agamba nti guno mulimu gwabwe era bakikola bulijjo.

“Abagamba nti Misiri y'erongoosa ekisaawe bali ku byabwe. Ekisaawe tukirabirira oba tukyaza Misiri wadde ttiimu endala," Ssewanyana bwe yategeezezza.

BASENA MUNYIIVU

Omutendesi wa Cranes, Moses Basena, akukkulumidde etteeka lya FIFA ne CAF eriragira kiraabu okuwa ttiimu z’eggwanga abazannyi ng’ebula ennaku ttaano zokka okuzannya omupiira ogw'ekigendererwa.

"Kyandibadde kirungi okuba n'obudde obumala n'abazannyi naye olw'okuba tetusobola kukyusa mu tteeka, tugenda kukola ekisoboka okulaba ng’obudde obuliwo tubukozesa bulungi,” Basena bwe yategeezezza.

Wabula Basena yagumizza Bannayuganda nga bw'agenda okulwana okulaba ng'afuna obuwanguzi ku Misiri kuba abazannyi be balina obumanyirivu.

Mu kiseera kye kimu, Cranes olukomywewo okuva e Rwanda mu mupiira gwa CHAN, Basena n'agiyingirizaawo okutendekebwa, nga bwe balinda bapulo okubeegattako.

Enkya (Lwakusatu) lw'asuubirwa okulangira abazannyi b'agenda okukozesa ku Misiri, kyokka agamba nti kyandibadde kirungi n’asooka okufunayo ogw’omukwano okugezesa ttiimu kuba wadde bagenda kuzannyamu ne Bukedea mu buvanjuba bw'eggwanga, guno gowkka guba tegumala. Cranes ne Misiri baabika August 31 e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...