TOP

Aba Pool bagenze Zimbabwe kuvuganya mu za Afrika

Added 26th August 2017

Aba Pool baasitudde eggulo okugenda mu ggwanga lya Zimbabwe okuvuganya mu mpaka za Africa ezigenda okwetabwamu amawanga mukaaga.

 Omumyuka wa ssabawandiisi wa NCS, David Katende (mu kkooti) ng'akwasa abazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya Pool abakyala n'abasajjja bbendera y'eggwanga nga bagenda mu mpaka za Africa e Zimbabwe. babadde Lugogo Aug 25 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Omumyuka wa ssabawandiisi wa NCS, David Katende (mu kkooti) ng'akwasa abazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya Pool abakyala n'abasajjja bbendera y'eggwanga nga bagenda mu mpaka za Africa e Zimbabwe. babadde Lugogo Aug 25 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Uganda egenze kutaasa kikopo kya Africa kye yawangula omwaka oguwedde bwe zaategekera mu Kampala mu bakazi n’abasajja. 

Ttiimu eno ay'abazannyi abakazi munaana n’abasajja munaana egenze ejjudde era yakwasiddwa bbendera omumyuka wa ssabawandiisi wa NCS, David Katende e Lugogo.

Empaka zino ezigenda okwetabwamu amawanga okuli; Kenya, South Afrifa, Botswana, Malawi, Uganda ne Zimbabwe abategesi za mulundi gwa 9 ku lukalu lwa Africa nga ziyitibwa Africa Black Ball Pool Championships. 

Kapiteeni wa ttiimu y’abasajja, Fahad Sewankambo agumizza Bannayuganda nti basuubire mudaali gwa zaabu olw’engeri gye beetegeseemu n’omutindo gw’abazannyi be bagenze nabo. 

Omutendesi agendedde ku ttiimu Bob Menani akakasizza nti abazannyi be abeesiga okutaasa engule ya Africa. 

Empaka zaakubumbujjira mu kibuga Harare okuva nga August 28 ziggwe nga September 2.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...