TOP

Nkyalese okuzaala lwa rugby - Wokorach

Added 29th August 2017

Phillip Wokorach, muzannyi wa rugby ku ttiimu y'eggwanga eya Rugby Cranes. Yakutte kyakubiri ku ngule ya USPA, eya munnabyamizannyo w'omwaka oguwedde.

 Wokorach ng'ali mu nsiike

Wokorach ng'ali mu nsiike

SCOVIA BABIRYE yamutuukiridde n'ayogera ku bulamu bwe. Nazaalibwa nga December 31, 1993, eri omugenzi Jalobo Serafino eyali amanyiddwa nga 'Daktar' ne Rose Lillian Ayot ow'e Kitintale. Ndi wakutaano mu baana omusanvu.

NZANNYA RUGBY

Natandika okuzannya Rugby mu 2002 nga ndi mu P3 ku Kiswa P/S, nga batandise Totos Rugby e Kyaddondo. Ebiseera ebyo twali tubeera mu Nakawa Quarters, nga ntera okugenda e Kyaddondo okulaba abazannyi.

Eno gye nafunira ekinyegenyege era Abazungu bwe batandika okutambuza rugby mu masomero nga banoonya abaana abato, nz'omu ku be baalondayo.

Bwe twamala P7 mu 2006 ne batutwala e Bungereza ne tulambula gye baasookera okuzannyira Rugby, omupiira, engatto n’engoye bye basooka okuzannyiramu.

Wabula olugendo luno kata lunsube nga mmange agaanyi okussa omukono ku biwandiiko ebitutwala kuba yali alowoooza nti Abazungu bagenda kutubba, wabula bwe namukaabirira ennyo n'akkiriza. E Bungereza twamalayo wiiki nnamba.

Bwe twakomawo ne ntandika S1 ku City High ne tukola ttiimu yaffe era mu S3 ne tugenda mu kuvuganya n’amasomero amalala.

Eno aba Hana International School gye bandabira ne bampa bbasale ne tuwangula empaka z’amasomero eza East African Games n’ekya 7s, era nze natwala eky'omuzannyi asukkulumye ku balala.

Omutindo guno gwantunda era we nabeerera mu S5 nga nzannyira ne kiraabu ya Buffaloes 2011.

Nga mmalirizza S6 mu 2012, nneegatta ku yunivasite ya UCU e Mukono okusoma diguli mu byobusuubuzi.

Heathens yantwala naye oluvannyuma ne mmenyekerayo amagulu ne banzijanjaba okutuusa lwe nnawona.

Mu 2014 nayitibwa ku ttiimu y'eggwanga eyazannya Scotland ku 7s era omutindo gwange ne gugenda mu maaso okuntunda, ttiimu ya Esher rugby Club ne ntwala okungezesa, kyokka oluvannyuma lw'emyezi ena ne nfuna obuvune, era awo okugezesebwa we kwakoma.

Mmange yali ayagala mbeere musambi wa mupiira nga kitange eyazannyanga nnamba 6 ku ttiimu y’eggwanga ne mu kitongole ky’amazzi (NWSC), wabula ensimbi z’okusasula mu akademi zaali nnyingi ate nga nange omutima gundi ku rugby, bwatyo n'abivaako.

EBIRALA

  • Sinnalowooza ku bya kuzaala wadde okufuna omubeezi kuba bijja kunzigya ku mulamwa, era mu kiseera kino nneemalidde ku rugby.
  • Rugby simutenda kuba ampeeredde ate kati mwe nzigya ekyokulya era ne diguli gye nasoma sigirowoozaako. Ebiseera byange ebisinga mbimala Kenya gye nzannyira ogw'ensimbi mu kiraabu ya Kabras. RFC mu nnamba 15. Ebiseera byange ebisinga mbimalira mu jjiimu okusobola okwekuumira ku mutindo, sso nga n'olumu hhenda ne mpuga.
  • Gino emibiri gyaffe giringa yingini era olina okugirabirira obulungi. Nfaayo nnyo ne kye ndya kuba nakyo kyongera ku mutindo. Olunaku ndya emirundi ena; ku makya, ekyemisana, ekyeggulo ne mu kiro, ate emmere ng’ewera bulungi.
  • Obuzibu bwa rugby mu Uganda bwa kubeera nti Gavumenti temuliiko nnyo, ssente basinga kuzissa mu mupiira. Gavumenti esaana ekwatagane n’akakiiko akakulira ebyemizannyo mu ggwanga balabe engeri gye bayinza okutuyambamu. E Kenya bateekamu ssente, ate batufaako okuviira ddala ku kye tulidde, ekigero, wamu n'emirundi.
  • Ekirooto kyange kya kufuuka kafulu nga nze nsinga mu rugby mu nsi yonna.
  • Engule USPA gye yampadde yanzizizzaamu amaanyi era hhenda kweyongera okukola ennyo.

EYALI OMUTENDESI AMWOGEDDEKO (Yayiro Kasasa)

We nabeerera omutendesi wa rugby mu 2014, Wokorach yali tanneeyunga ku ttiimu kuba yali akyabulamu.

Kati agenze akuguka mpola, naye akyetaaga emizannyo emirala asobole okwongera okufuna obumanyirivu.

Alina empisa era wadde abantu abasinga bamugulumiza teyeetwalira waggulu.

Twasanyuka nga USPA emusiimye kuba kyatulaze nti naffe batufaako.

Tufuba okulaba ng'abazannyi baffe basoma ne bamalako ate bafuna n'obudde okukola emirimu emirala, kibayambe obutayagga nga bannyuse okuzannya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...