TOP

Empindi ewanduddemu abalangira ne bakukkuluma

Added 29th August 2017

Empindi ewanduddemu abalangira ne bakukkuluma

MPINDI 2-0 BALANGIRA

Bya Joseph Zziwa

OMUTENDESI w’ekika ky’Abalabgira Martin Jjuuko agenze yewuunya omukisa ab’ekika ky’Empindi gwe bazze nagwo nga ono yasinzidde kunnumba ez’omuddiringanwa Abalangira z'ebaakoze kyokka nga omupiira gukoma ku mimwa gya Ggoolo nga bano baakubye n’empagi emirundi ebiri.

Bano baabadde basisinkanye mu luzannya olusooka ku mutendera gwa Quarter Fayinolo mu mpaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda nga Empindi yaguwangudde ku goolo 2-1 ezateebeddwa Yuda Mugalu ne Yusufu Saaka.

Oluvannyuma lw’omupiira Jjuma yategeezezza nti obuzibu obusinga bubadde mu kisenga naddala nga Hassan Wasswa tabaddeewo kyokka n’ategeeza nti alina essuubi nti mu luzannya olw’okuddingana ttiimu ejjakuba ejjudde era bajja kuyitawo.

Ate ye Edward Kaziba ow’Empindi agamba nti goolo ebbiri zebaafunye tezijja kubeeyinuza era mu luzannya olw’okuddingana baakulumbirawo kuba omupiira obudde bwonna gukyuuka.

Baakuddingangana ku Monday nga 4/September/2017

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...