TOP

Basena awera: "E Misiri nayo tunona buwanguzi"

Added 1st September 2017

CRANES esitula nkya ku Lwomukaaga okwolekera Misiri okuddihhana ne bannyinimu mu z'okusunsulamu abalizannya World Cup omwaka ogujja.

 Abawagizi nga bajaganyizza ggoolo ya Emma Okwi eyawadde Cranes obuwanguzi obusookedde ddala ku ttiimu ya Egypt. EKIF: SILVANO KIBUUKA

Abawagizi nga bajaganyizza ggoolo ya Emma Okwi eyawadde Cranes obuwanguzi obusookedde ddala ku ttiimu ya Egypt. EKIF: SILVANO KIBUUKA

Lwakubiri mu za World Cup

Misiri - Uganda, 3:00 ez'ekiro e Misiri

Basitula ssaawa 10:00 ez'ekiro mu nnyonyi ya Egyptian Airways egende okubatwala mu kibuga Cairo gye banaava okugenda mu Alexandria omupiira gye gunaazannyirwa.

Mu gwasoose ku Lwokuna e Namboole, Cranes yawangudde ne ggoolo 1-0 eyateebeddwa Emma Okwi n’erinnya ku ntikko y’ekibinja E n’obubonero 7 ate Misiri n’esigala mu kyokubiri ku bubonero 6.

Ttiimu endala eziri mu kibinja E ye Ghana eyakyazizza Congo Brazzaville eggulo (Lwakutaano).

Nga Uganda tennasitula, Basena yategeezezza nti wadde bagenze ku bugenyi, baakulwana bafune obuwanguzi kuba atunuulidde kutwala Cranes mu World Cup afuuke omutendesi asoose okukikola mu byafaayo bya Uganda.

Yasabye abazannyi obutacamuukirira olw’obuwanguzi bwe baafunye e Namboole kuba Misiri gye balumbye egenda kuba nkambwe ng'ennumba kuba nayo omupiira egwetaaga.

“Abalenzi baazannye bulungi naye tebalina kucamuukirira wabula okutandikirawo okwetegekera ogw’okuddihhana kuba abawagizi batulinamu essuubi okufuna obuwanguzi,” Basena bwe yalabudde abazannyi.

Yazzizzaamu Bannayuganda essuubi nti ttiimu ye esobola okugenda mu World Cup ssinga abazannyi basigala ku mutindo gwe baazannyiddeko ku Lwokuna.

Eggulo (Lwakutaano), Cranes lwe yazzeemu okutendekebwa mu kisaawe e Namboole

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji ...

Ab'ekkanisa ya Shincheonji baweddeyo omusaayi okutaasa Bannnaabwe okirwadde kya Corona