TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ssekandi atenderezza omulimu gw'okuzimba ekisaawe ky'e Nakivubo

Ssekandi atenderezza omulimu gw'okuzimba ekisaawe ky'e Nakivubo

Added 10th September 2017

Ssekandi atenderezza omulimu gw’okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo

 Wano baabadde balambula omulimu ogukolebwa.

Wano baabadde balambula omulimu ogukolebwa.

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi alambudde omulimu gw’okuzimba ekisaawe kya Nakivubo War Memorial Stadium’ n’atendereza omugagga Ham by’akoledde eggwanga era n’asaba abantu bonna okukomya ssamwa ssamwa nti ekisaawe bakizimbamu akeedi.

“Nze ndi muwagizi wa mupiira lukulwe era mpagira nnyo omupiira gwaffe wabula okuva mu 1960 ndaba ekisaawe kino kiringa kiraalo wabula kinsanyudde bwe nnyingidde wano ne ndaba omulimu amatendo ogugenda mu maaso ne nneewuunya abantu ababadde boogera ebitaliiko mutwe na magulu,” Ssekandi bwe yategeezezza.

Ssekandi yabyogedde ku Lwokutaano bwe yabadde alambula omulimu gw’okuzimba Nakivubo we gutuuse n’asaba Bannayuganda okuwagira Munnayuganda munnaabwe Hajj Hamis Kiggundu assa ssente mu kuzimba ekisaawe kino.

BAKKABULINDI AGUGUMBUDDE ABOOGERERA HAM:

Omukolo guno gwetabiddwaako ne minisita ow’Ebyemizannyo, Charles Bakabulindi n’omugagga Ham era Bakabulindi yannyonnyodde Ssekandi nti Bannayuganda boogeredde ekisaawe kino amafuukuule nga beerabidde nti Ham takizimba ng’ekikye wabula akizimbira ggwanga.

Yagambye nti ekisaawe kya Nakivubo kibadde kituuza abantu 15,000 wabula kati kigenda kituuza 35,000 nga bonna batudde era tekyali bya kirussia.

Yagambye nti abantu abagamba nti ekisaawe kyonna Ham akizimbyemu amaduuka balina kye batamanyi nti okusima wansi ennyo kkampuni eya Roko Construction (ekola ogw’okuzimba) ekikola kugoba mazzi agabadde ganjaala mu kisaawe ng’enkuba etonnye.

Bakabulindi yagugumbudde abantu aboogerera Ham amafuukuule nti lwaki yasooka kuzimba maduuka ne beerabira nti ne ssente ezizimba ekisaawe yazeewola bwewozi nti era alina kusooka okumaliriza ekintu omugenda okuva ssente. Bakkabulindi yagambye nti ekisaawe kino kigenda kubaamu n’ebisaawe by’emizannyo egy’omunda ne wabweru okuli cricket, ttena, ebikonde, jjiimu n’ebirala.

‘MPADDE BANNAYUGANDA EMIRIMU’: Omugagga Ham yagambye nti omulimu guno agukolera Bannayuganda wabula si ye ng’omuntu era ku myaka 33 gy’alina w’anaawereza 40 nga Nakivubo atemya ng’omuntu.

Yasabye bamuwagire baleme kumuvvoola. Yagambye nti omulimu gwonna okusooka gwabadde gugenda kuwemmenta obukadde bwa doola 49 (obuwumbi 173 n’obukadde 460) wabula okusinziira ku ngeri ekisaawe gye kigenda okuyooyootebwamu, ssente zigenda kweyongera kuba baakussaamu entebe n’entimbe za ttivvi eby’omulembe.

Ham yagasseeko nti Bannayuganda bandimusiimye kuba bukyanga atandika kuzimba yaakawa bannansi abali wakati 8,000 – 10,000 emirimu.

OWA ROKO AYOGEDDE:

Akulira okuzimba ekisaawe kino okuva mu Roko, Aine Agaba yagambye nti omulimu gwakumala emyaka esatu nga kati baakazimbira emyezi esatu n’ekitundu era ng’okuzimba wansi omulimu baakakulako ebitundu 90 ku 100.

Yagambye nti okusima ekinnya kya mmita 7 okukka wansi baabadde baagala kugoba mazzi mu Nakivubo, bazimbe ekintu ekigumu. N’agattako nti omwaka 2018 we gunaaggweerako bajja kuba batuuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...