TOP

Liigi y'abali wansi we 18 etandika lunaku lwa nkya

Added 15th September 2017

Liigi y'abali wansi we 18 etandika lunaku lwa nkya

Abazannyi ba Kiraabu ya Masavu nga bali ku ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw'okwekebejjebwa

Abazannyi ba Kiraabu ya Masavu nga bali ku ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw'okwekebejjebwa

Bya Joseph Zziwa

NGA Liigi y’abali wansi w'emyaka 18 eya Fufa Junior Liigi eggyibwako akawuuwo olunaku lw'enkya, kiraabu ezisuumusiddwa abazannyi baazo bamaze okuba nga beekebejjebwa emyaka gyabwe emituufu.

Kiraabu omuli Masavu fc,Mbarara City ne Maroons abazannyi baazo bamaze okuba nga batwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejja emyaka gyabwe era ebivuddeyo biraze nti abazannyi ba Kiraabu zino bonna bakakasiddwa okuba nga beetaba mu mpaka zino okusinziira ku alipoota y'Abasawo.

Okusinziira ku akulira eby'okutumbula ebitone by'abaana mu FUFA Bashir Mutyaba ategeezezza nti ebbanga eriyise liigi eno ebadde ezannyibwa abaana abali wansi w'emyaka 17 naye kati yasuumusiddwa n'edda ku bali wansi w'emyaka 18.

"Twakirabye nti abaana bangi nnyo betufiirwa abalina ebitone ku myaka 18 bwe tutyo ne tusalawo okukyusa ku myaka tusobole okutumbula ebitone bino nga n'abatendesi bwebafuba okubeetegereza basobole okubawa omukisa okuzannyirako mu kiraabu za wano ennene ezimanyiddwanga ez'ababinyweera." Bwatyo Bashir Bwategeezezza

Agamu ku mateeka agongeddwa mu mpaka zino kiraabu zonna zirina okuwandiisa abazannyi 25 wabula ate ne zino ezisangiddwaawo zirina okuba nga ziweza abazannyi 15 abeetabye mu liigi ewedde.

Liggi eggyibwako akawuuwo olunaku lw'enkya n'emipiira esatu Maroons ne Onduparaka e Luzira, Mbarara City ne Express e Kakyeka, Proline ne Masavu ku kisaawe kya Star Times e Lugogo(Phillip Omond)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesasira n’abasuubuzi abalala nga balumbye minisita.

Ab'akatale k'e Wandegeya ba...

ABASUUBUZI mu katale k'e Wandegeya balemesezza minisita wa Kampala, Nnalongo Benny Namugwanya okulondesa abakulembeze...

Pulezidenti Museveni e Bukedi.

Museveni akunze abavubuka k...

PULEZIDENTI Museveni asabye abavubuka okulonda abakulembeze abalina entegeka z'okubaggya mu bwavu okusinga okwesiba...

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

Muve ku masanyu mukuze ttal...

SSENTEBE w'akakiiko ka NCS, akatwala emizannyo mu ggwanga, Dr. Donald Rukare, akuutidde bannabyamizannyo okulemera...

Abazannyi ba KCCA (ku kkono) mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu y'eggwanga eya U17. KCCA yawangudde (5-1).

Bright Stars ne KCCA ziggud...

Bright Stars - KCCA e Kavumba 10:00 ENNYONTA abawagizi ba liigi ya Uganda gye babadde nayo eggwaawo leero, era...

Decolas Kiiza, amyuka akulira emirimu mu FUFA, ng'alambuza abaakakiiko k'Amasaza. Wakati ye Ssejjengo ne Ssekabembe (amuddiridde mu ssuuti).

Ab'Amasaza balabuddwa

ABAKAKIIKO akategeka empaka z'Amasaza balabudde okugoba abazannyi n'abakungu ba ttiimu abanaatoloka mu nkambi awagenda...