TOP

Ghana bayomba lwa kusuula bassita 2Uganda

Added 8th October 2017

Ghana bayomba lwa kusuula bassita 2Uganda

EMPALANA YA APPIAH NE PELE: Obutakwatagana wakati wa Appiah ne Pele kigambibwa nti bwatandika mu 1992 mu mpaka z’Afrika ezaategekebwa mu Ivory Cost, eyali omutendesi wa Ghana mu kiseera ekyo, Otto Pfister bwe yaggya Appiah ku bwakapiteeni bwa ttiimu y’eggwanga n’abuwa Abedi Pele eyali akyali omuto mu myaka.

Kigambibwa nti okumuggyako ekikomo Appiah yakiraba ng’okumuyisaamu amaaso era bwe baava mu mpaka ezo, n’alangirira nga bw’annyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga. Okuva olwo, Appiah ne Pele tebakwatagana era abatunuulizi bagamba nti okusuula batabani be ku ttiimu y’eggwanga, yabadde yeesasuza.

APPIAH KY’AGAMBA: Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno, Appiah yategeezezza bannamawulire nti, okusuula Andre ne Jordan yayagadde okuwa bazannyi abalala omukisa nabo bazannyeko ku y’eggwanga nabo alabe obusobozi bwabwe. “Sirina buzibu na muzannyi yenna kuba nange njagala ttiimu ennyweevu esobola okuwangula ebikopo. Mu kaseera kano ntunuulidde kuzimba ttiimu eneesobola okuwangula bikopo nga njagala abazannyi bano abato balwanire ennamba kyongere okuvuganya mu ttiimu,” Appiah bwe yagambye.

Wabula okwewozaako kwe waliwo abakukubyemu ebituli nga bagamba nti, “Lwaki agezesa mu kaseera kano ku mipiira egisalawo ttiimu okuyitawo!” Ghana yasemba okuwangula ekikopo ky’Afrika mu 1982 era emaze emyaka 35 nga tewangula kikopo kirala nga n’okuva mu kibinja mu za World Cup, yaakakikola mu za 2010 e South Afrika mwokka.

Abamu ku bawagizi b’omupiira mu Ghana bagamba nti ttiimu okuvuya kiva ku butakwatagana mu baaguzannyako ssaako mu bazannyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...