TOP

Ejjoogo lya Vipers ku Villa lituuse ne mu liigi y'abato

Added 13th October 2017

Ejjoogo lya Vipers ku Villa lituuse ne mu liigi y'abato

Bya Joseph Zziwa

Vipers SC 2-0 SC Villa Jogoo

Express FC 2-4 Proline

Masavu FC 3-2 Soana FC

Bright Stars 2-2 Mbarara City FC

Police FC 2-2 Kirinya Jinja SS

EJJOOGO lya Vipers ku ttiimu ya Villa lyeyongedde Villa ento bweyakyalidde Vipers ku kisaawe kya St Marys College Kisubi mu Liigi y'abali wansi w'emyaka 18 eya Fufa Juniors Liigi ne bagiwuttulirayo 2-0.

 
Mu mupiira ogwasembayo mu Liigi ya Azam ,Vipers yakuba Villa ku goolo 1-0 ku kisaawe kya St Marys Stadium Kitende nga guno gwaviirako n'abamu ku bazannyi ba Villa okuteekebwa ku kkoligo ssaako ne ttiimu okutanzibwa akakadde k'ensimbi za Uganda lwa kulwanira mu kisaawe.
 
Villa yazze ku kisaawe n'ekigendererwa ky'okwesasuza kyokka Vipers teyabagannyizza era gye byaggweeredde nga bagiwuttudde 2-0 ezateebeddwa Nazar Benjamin ne Mpanga Juma nga n'abawagizi ba Vipers kira badduumira bagamba tubabonereza kumenya kisaawe kyaffe.
 
Wabula omutendesi wa Villa Edwin Laston yategeezezza nti obuzibu bwavudde ku bateebi be okuli Charles Lwanga ne Salim Abudallah abataabaddewo olw'obuvune

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...