TOP

Express eyimirizza omukungu waayo lwa bulimba

Added 15th October 2017

Express eyimirizza omukungu waayo lwa bulimba

 WALUGEMBE EYAYIMIRIZIDDWA KU EXPRESS

WALUGEMBE EYAYIMIRIZIDDWA KU EXPRESS

OMUKUNGU wa Express, Juuko Walugembe bamuyimirizza lwa kukozesa lukujjukujju n’atwala ttiimu ndala ng’agirimbise mu linnya lya Express.

Juuko, eyaakamala omwezi ogumu ng’alondeddwa okukulira emirimu mu ttiimu eno, ku Lwokusatu ssentebe Nakiwala Kiyingi yamuyimirizza mbagirawo okumala omwezi mulamba nga bamulanga kulonderera bazannyi n’abatwala e Mubende okuzannya ne Eliana Mubende Municipality FC ng’alimbye abategesi nti ye ‘Mukwano gwa bangi’ Express FC.

Wiiki ewedde, Walugembe yakkaanyizza ne Godfrey Mugerwa omukungu wa ttiimu y’e Mubende okubatwalira Express bazannyemu ogw’omukwano ku mukolo gw’okukuza Ameefuga ga Buganda. Mu nzikiriziganya eno, Walugembe yasabye ttiimu y’e Mubende 550,000/- okutambuza ttiimu olwo ebyokulya n’okusasula ensako y’abazannyi bikolweko nga batuuse e Mubende.

Aba Mubende nga baawaddeyo ssente, baatandika okukola ku nteekateeka n’okuyita abagenyi abakulu okubeerawo. Nga Walugembe amaze okukutula ddiiru eno, yatuukiridde omutendesi Deo Bamweyana owa Express n’amutegeeza ku lugendo lunoKyokka Bamweyana n’agaana kuba ku Lwokubiri, Express yabadde erina okuzannya URA mu liigi, Bamweyana ky’agamba nti tewaabaddewo budde bugenda Mubende. Walugembe yagenze ewa maneja wa Express, Abdul Kinobe n’amuggyako emijoozi gya ttiimu ye n’apanga abazannyi okuva ku kasaawe ewa Sendi e Wankulukuku n’abatwala mu linnya lya Express.

E Mubende, baatuukidde mu mizira era abawagizi baakwatiridde ekisaawe okwerabira ku bassita ba Express ‘Square Pass Moto’. Kalabaalaba w’omukolo olwalabye mmotoka erimu abagenyi n’agamba nti, “Abakyali ebweru mwanguweko abalindwa batuuse.”

Abazannyi baatandise okufuluma nga bwe beesogga ekisaawe okwambala era abawagizi ne batandika okubakuhhaanirako n’abamu okwekubya nabo ebifaananyi buyite ‘buselfie’. Wabula omu ku bawagizi, yabuuzizza munne amuliraanye nga wayise akabanga nti, “Naye, ng’abazannyi be mmanyi mu Express sibalabamu! Bengo simulaba, Jjingo, Michael Birungi ne Sserunkuuma Muzei nabo sibalaba.

Tebazze? Abantu bano tebatufera!” Obwama bwatandise okusaasaana mu bawagizi era Mugerwa bwe yawulidde ng’abawagizi batandise okwemulugunya, n’alagira abaabadde ku miryango okugivaako baleke abantu bayingirire obwereere, anti baasoose kusolooza 3,000/-.

MUGERWA KY’AGAMBA: Olwalabye ng’abawagizi batandise okucankalana nadduse ku kisaawe ne nkubira Walugembe essimu (eyabadde tatambudde ne ttiimu) nga tagikwata wabula ne nfuna engeri gye nziza embeera mu nteeko era omupiira ne guzannyibwa wakati mu kukubagana empawa mu bawagizi.

Enkeera, Walugembe yankubidde n’ahhamba nti, “Okyalina ky’obanja, ttiimu tewagirabye?” Kino kyantabudde ne nnumba Nakiwala naye eyayise Walugembe okubitebya era bwe yalabye atamattama n’amukwasa omuserikale we amutwale ku poliisi oba si ekyo anzirize ssente zange.

Mugerwa ayongerako nti, Waasoose kubaawo kanyoolagano nga Walugembe agamba nti talinaawo ssente kyokka omuserikale bwe yaggyeeyo essimu akubire poliisi, n’atandika okukubira mikwano gye gimuweereze ssente ku ssimu era kino nti kyatutte essaawa nga 5 nga tezinnafunika. Wabula oluvannyuma yazifunye n’aziwaayo ne bamuta. Wabula Nakiwala yasazeewo okumuyimiriza omwezi mulamba ng’agamba nti ebikolwa bye biraga ekifaananyi ekibi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.