
Omutendesi Shafiq Bisaso ng'ayogerako eri abazannyi be mu kutendekebwa
Kino kivudde ku bazannyi be okwolesa omutindo ogw'ekiboggwe nga sizoni yaakatandika.
Soana mu kiseera kino eri mu kifo kya 15 n’obubonero 4 mu mipiira 5.
Ku Lwomukaaga yakubiddwa Onduparaka ggoolo 2-0 mu Arua.
Enkya ku Lwokusatu Soana ekyalira Vipers mu maka gaayo aga St Mary’s e Kitende balyoke babulonde.
Mu kutendekebwa kwa leero, Bisaso aweze okutandikira ku Vipers okufuna obuwanguzi oluvannyuma lwa Willy Kavuma ne Paddy Muhumuza bannamuziga ba ttiimu okussuuka obuvune ne baddamu okutendekebwa.