TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omukazi yeesowoddeyo okugula Newcastle: Yasooka kulamuza Liverpool ne bamulemesa

Omukazi yeesowoddeyo okugula Newcastle: Yasooka kulamuza Liverpool ne bamulemesa

Added 22nd October 2017

OMUKAZI ensimbi gwe ziyitaba, yeesowoddeyo agule Newcastle eya Premier.

 Amanda Staveley

Amanda Staveley

Omukazi ono ye Amanda Staveley ng'ayagala kutuula ku mmeeza y'emu n'abasajja enjasabiggu era abagagga ffuge abaagula ttiimu za Premier okuli; Sheikh Mansoor nnannyini Man City, Roman Abramovic owa Chelsea n'abalala.

Omukyala ono akubye obukadde bwa pawundi 300 ku mmeeza oluvannyuma lwa Mike Ashley okukisiinyaako, nti agenda kutunda Newcastle.

Nnakyala afungizza era omupiira Newcastle gwe yazannye Liverpool, yagwota buliro.

Wadde era waliwo abantu abalala abeesowoddeyo okugula Newcastle, Ashley nannanyini yo, yandiwalirizibwa okugiguza Amanda olw'ensimbi ennyingi z'agitaddeko.

Ashley, Newcastle yagigula mu 2007 ku bukadde bwa pawundi 134 ng'okugitunda obukadde bwa pawundi 300, aba akoze amagoba mayiritirivu. Omukazi ono y'ani? Nzaalwa y'e Bungereza ng'aweza emyaka 44.

Mukazi munnabizinensi nga ye nnanyini kkampuni ya PCP Capital Partner ekola nga kayungirizi mu kuyunga kkampuni etunda oba egula ebintu ebitali bimu.

Ng'akyasoma, yeenyigira mu byemizannyo naddala okudduka kyokka bwe yatuuka ku yunivasite, jjajja we n'afa eby'okusoma n'abivaako n'ategeeza nti; "Jjajja y'abadde ansomesa ebintu eby'enjawulo era k'afudde, sirina kirala kye njagala mu kusoma nga y'essaawa okutandika olugendo lwange olunanfuula omugagga bifeekeera." Wano we yatandikira okwenyigira mu bizinensi ez'enjawulo.

Abantu baatandika okumumanya, bwe yayunga kkampuni y'Abalangira b'e Abu Dhabi ne Qatar abaagula egimu ku migabo gya Barclays Bank ku buwumbi bwa pawundi 7.3.

Ddiiru y'agenda okuggwa ng'omulangira Sheikh Mansour Bin Zayed Al Nahyan ataddemu obuwambi 3.5 olwo kkampuni ya nnakyala ono n'esasulwa obukadde obusoba mu 110 mu ngeri ya kaminsoni.

Yayingira atya mu mupiira? Staveley takoma ku kukutula ddiiru za bizinensi zokka, wabula n'ez'omupiira. Mu 2009, ng'ayita mu kkampuni ye eya PCP, yali mabega w'omugagga Sheikh Mansour mu kugula Man City okuva ku Thaksin Shinawatra eyali nnannyini yo.

Omwaka oguwedde, yali yeesowoddeyo okugula Liverpool wabula Fenway Sports Group n'egoba ensimbi ze yali aleese ng'eyagala akawumbi ka pawundi kalamba. Amanda takoma mu mupiira gwokka, wabula ne mu muzannyo gw'embalaasi yasimbayo amakanda.

SSENTE AZIGGYA WA?

Ng'avudde ku by'okusoma, yeewoola doola emitwalo 18 n'atandika ekirabo ky'emmere. Yagitembeeyanga akawungeezi mu bantu. Eno gye yafunira emikwano egyamuyunga ku kkampuni ez'amaanyi n'azigulamu emigabo.

Emu ku kkampuni ze yagulamu emigabo kuliko eya Dot.com Enterprises. Ekyaddirira kugula migabo mu kkampuni y'amasimu eya EuroTelecom wabula ssente yali azeewoze n'alemwa okusasula era kkampuni n'egwa.

Yadda engulu n'agenda e Dubai okukola bizinensi. Yafuna abaamuyunga ku bagagga b'omu Abu Dhabi gye yakwataganira n'abagagga ab'olulyo olulangira. Ssente ze yafuna eyo, mwe yakola kkampuni ye eya PCP Capital Partners.

Era abeera Dubai wadde ng'e London alinayo amaka abakyala abalala abalina ttiimu Si ye mukazi asoose okubeera nnannyini ttiimu.

Katharina Liebherr enzaalwa y'e Switzeland alina emigabo ebitundu 20 ku 100 ku bwannyannyini Southampton.

Omukazi omulala ali mu mupiira ye Karren Brady, amyuka ssentebe wa West Ham ate nga mu Scotland, Anna Budge yaliko nnannyini Hearts.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...