TOP

Omulangira David Wasajja awagidde emisinde gy'ebyalo

Added 23rd October 2017

Omulangira David Wasajja awagidde emisinde gy'ebyalo

 Omulangira Wasajja ng'akulembeddemu abaddusi

Omulangira Wasajja ng'akulembeddemu abaddusi

21km:

1.Alex Mubiru    1:30.18

2.Fred Lutaaya 1:42.10

3.Julius Makubuya 1:47.12

15 Km:

1.Prince David Wasajja 1:35.00

2.Edward Lokojo 1:35.40

10 Km:

1.Andrew Musiime 50 min.

2.Medad Niwabaine 51 min

5 Km:

1.Emid Sabiiti 35 Min

2.Rashid Semanda 41

OMULANGIRA David Wasajja y’omu ku bagumidde ekire ky’enkuba eyakedde okuwandaggalala mu Kampala ne yeetaba mu misinde egy’okusonda ensimbi ez’okuzimba essomero lya St.Paul Demonstration School Bunga- Kawuku.

Ensimbi zigenda kutumbula eby’enjigiriza mu nasale eri wansi w’essomero lino eyitibwa Gaba Early Childhood Development Center eriri ku musingi gwa UPE.

 

“Amawanga agaakula nago gategeka emisinde gy’ebitundu nga gino okusonda ensimbi okwekulaakulanya. Musaanye mujjumbire okusingako kati omwaka ogujja,” Omulangira bwe yategeezezza.

Emisinde gino givuddemu sente 5,000,000/= ng’abategesi aba Moto Moto bazikwasizza abakulira essomero eryo mu ceeke.

Abaddusi abasobye mu 200 be beetabye mu misinde gino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...