TOP

Ebipya bizuuse ku ngule Ronaldo gye yawangudde

Added 24th October 2017

EBIPYA bizuuse ku ngule y’obuzannyi bw’ensi yonna Cristiano Ronaldo gye yawangudde.

Ronaldo ng'anywegera engule gye yawangudde

Ronaldo ng'anywegera engule gye yawangudde

Ye kennyini ne Lionel Messi eyamuddiridde tekuli yalonda munne mu bazannyi abasinga okucanga akapiira mu nsi yonna ab’omwaka 2016. Ekirala ekizuuse, bassita bano baalonda bazannyi ba kiraabu zaabwe mwe basambira.

Engule eno erondebwa abatendesi ne bakapiteeni ba ttiimu z’amawanga nga Ronaldo owa Portugal yessa mu kifo ekisooka n’azzaako Luka Modric, Sergio Ramos ne Marcelo bwe bazannyira mu Real Madrid.

Ye Messi, kapiteeni wa Argentina, yessa mu kifo ekisooka n’azzaako Luis Suarez, Andres Iniesta ne Neymar bwe baasambira Barcelona. Wabula Neymar yaguliddwa PSG eya Bufalansa.

Ekimu ku byewuunyisa, Gareth Southgate, atendeka Bungereza, yamma Messi akalulu mu bazannyi abana abamusingira okucanga akapiira.

Kino kyawanuziddwa nti Southgate yagaana lwa kakuku akaliwo wakati wa Bungeza ne Argentina n’okuba nga Argentina ye yaggyamu Bungereza ng’akyagizannyira mu World Cup ya 2008.

Omufalansa Zinedine Zidane ye yawangudde obutendesi bw’omwaka olw’okuyamba Real Madrid okuwangula liigi ya Spain ne Champions League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...