TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Sean Dyke y'asuubirwa okulya obutendesi bwa Everton

Sean Dyke y'asuubirwa okulya obutendesi bwa Everton

Added 24th October 2017

Omutendesi wa Burnley, Sean Dyke y’asuubirwa okulya obutendesi bwa Everton ng’adda mu bigere bya Ronald Koeman eyakwatiddwa ku nkoona ku Mmande.

 Sean Dyke

Sean Dyke

Ono ekyamugobezza kwe kulemwa okusitula ttiimu eno sso nga yaweebwa ssente n’agula buli muzannyi gwe yasaba.

Bano mwalimu Wayne Rooney (ManU), Sigurdsson (Swansea), Michael Keane (Hull City) n’abalala.

Dyke bw’alondebwa, y’ajja okuba omutendesi Omungereza ali mw’emu ku kiraabu ez’erinnya mu Premier.

Everton yawuttuddwa Arsenal (5-2) mu maka gaayo ku Goodison Park sso nga Burnley yaamunaana mu Premier eya ttiimu 20.

Wabula David Unsworth, eyaliko ssita wa Everton era nga y’atendeka ttiimu yaayo eya U23, y’agenda okukola ng’omutendesi nga battunka ne Chelsea enkya mu League Cup.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...