TOP

Barcelona ettukizza eby'okugula Coutinho

Added 26th October 2017

BARCELONA eyeesiba ku Liverpool egiguze Philippe Coutinho mu katale k'okugula abazannyi mu August, ezzeeyo nga yeesibye bbiri, emugule mu katale ka January omwaka ogujja.

Philippe Coutinho

Philippe Coutinho

Omubrazil ono, Barcelona yamussaako obukadde bwa pawundi 114 wabula omutendesi Jurgen Klopp n'abakungu ba Liverpool ne bakikkaatiriza nti omuteebi waabwe tebamutunda.

Barcelona, yali eyigga omusika wa Neymar era ensimbi ze yali etutte e Bungereza n'ediba nazo mu ngalo.

Olupapula lw'amwulire olwa Mundo Deportivo olw'e Spain, lutegeezezza nti Barcelona yeetegese okuddayo mu Liverpool mu January eddemu eperereze abakungu baayo ku muzannyi ono.

Wabula kiteeberezebwa nti kati Liverpool erinnyisizza ebbeeyi nga ttiimu eramuza Coutinho erina okuba nga waakiri eweza obukadde bwa pawundi 134.

Wadde guli gutyo, abakungu ba Barcelona baakwesiba ku kyakuba nti sizoni eno, ne bwe bagula Coutinho, tayinza kubazannyira mu Champions League kuba yazannyiddeko Liverpool nga kwe bajja okusinziira okusaba Liverpool ebasalireko.

Liverpool by’esiba sizoni eno bikutuka nga mu Premier, emipiira 5 egisembyeyo ewanguddeko gumu gwokka.

Ennekkiriza okutunda Countinho? Maaso ku lutimbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...