TOP

Kabonge atiisizza okusuulawo Lira United

Added 27th October 2017

OMUTENDESI eyayingiza Onduparaka FC ne Masavu FC mu liigi ya babinywera, Allan Kabonge, Lira Unite eya Big League gy'atendeka kati emutuddemu.

Allan Kabonge lwe yawangula engule y'omutendesi wa Big League

Allan Kabonge lwe yawangula engule y'omutendesi wa Big League

Bya GERALD KIKULWE

Kabonge agamba nti bakama be balemeddwa okumuwa ebikozesebwa ebiyamba ttiimu okugenda mu maaso ky'agamba nti tekiyinza kutwala ttiimu mu maaso.

Yanokoddeyo eky'abazannyi abamu obutaba na ngatto mwe bazannyi sso nga n'olundi, ssente z'entambula zibula olwo ye n'abazannyi be ne beeyiiya.

Lira United yakubiddwa Kyetume FC ggoolo 1-0 mu Big League nga kati guno mupiira gwakusatu nga bakubwa mw’ena gye baakasamba.

Kabonge eyeegatta ku ttiimu eno mu July w'omwaka guno naye atendewaliddwa kuba tayinza kutendekera mu mbeera mbi bwetyo.

“Sigenda kweyongerayo na ttiimu eri mu mbeera bwetyo kuba kigenda kulemesa ekigendererwa kyange eky’okutwala Lira United mu liigi ya babinywera," Kabonge bw'agamba.

Yagasseeko nti waliwo n’ensonga nnyingi ez’omunda ezikonzibizza omutindo gwa ttiimu. Lira United y'eddiridde asembye mu kibinja kya Elgon ekirimu ttiimu 13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...