TOP

Ab'emifumbi bawaga kusitukira mu ngule Ssande eno

Added 16th November 2017

Abeemifumbi buli omu awera kumegga munne abuuke n'engule ya Mr. Uganda ku Ssande eno

 Isaac Mubikiirwa okuva ku ddyo n'abamu ku bagenda okuvugannya mu mpaka za Mr Uganda ez'omwaka guno.Ekif FRED KISEKKA.

Isaac Mubikiirwa okuva ku ddyo n'abamu ku bagenda okuvugannya mu mpaka za Mr Uganda ez'omwaka guno.Ekif FRED KISEKKA.

Bya Fred Kisekka

Abazannyi 35 ab’emifumbi bawera kuwangula mpaka za ‘Mr Uganda Body Building Championships’ ezigenda okubumbugyira ku Hotel Africana ku Ssande eno.

Abamu ku bazannyi b'emifumbi abasuubirwa okulwanira engule y’omwaka guno mulimu; Isaac Mubikiirwa ng’ono asinzidde ku Hotel Africana awabadde omukolo gw’okusunsulamu okusembyeeyo leero ku Lwokuna n'agamba nti talabawo amutiisa kumutwalako buwanguzi.

Mubikiirwa ye yawangudde empaka za ‘Mr.Kampala’ ez’omwaka guno era atunuuliddwa okuteekawo okuvugannya okwamaanyi.

Mu bakyala, Irene Kasuubo waakuddamu okulwanira engule eno gy'awangudde emyaka ebiri egisembye (2015 ne 2016) era okusinziira ku Pulezidenti wa Uganda Body Building and Fitness Association, Twaha Ddungu, essira bagenda kulissa ku bakazi omulundi guno.

Ivan Byekwaso, Kizito Mubarak ne Andrew Ssenoga be bamu ku bazannyi b'emifumbi abawangudde empaka zino mu myaka etaano egisembye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...