
SC Villa 1-0 Express
Proline 2-1 KCCA
Vipers 2-0 Kirinya Jinja SS
KCCA yayingidde omupiira guno ng’etunuulidde buwanguzi erinnye ku ntikko kyokka amaaso gaagimyuse nga Proline ebadde yaakukubwa emipiira ebiri egisembyeyo ng’egikaabya akayirigombe.
Ggoolo za Proline zaateebeddwa Daniel Isiagi mu ddakiika y’e 17 ne 61 ate Paul Mucureezi n’ateebera KCCA.
Proline yeegasse ku Vipers eyasooka okuwangula KCCA omwayo e Lugogo sizoni ewedde.
Omutendesi Mike Mutebi yategeezezza nti abazannyi be baazannye bubi nnyo kuba baavudde ku biragiro bye.
OMUZUNGU WA VIPERS AFUNYE KU BUWEERERO
Miguel da Costa, atendeka Vipers yafulumye ekisaawe nga musanyufu ttiimu ye bwe yakubye Kirinya Jinja (2-0).
Ggoolo zino zaateebeddwa Milton Karisa. Vipers yabadde yaakamala emipiira 3 egy’omuddiring’anwa nga tewangula.