TOP

Messi atadde akaka! Temugeza ne muleeta Ozil mu Barcelona

Added 27th November 2017

OLUVANNYUMA lw'okuweebwa endagaano empya emufuula omuzannyi wa Barcelona okutuusa mu 2021, Lionel Messi atandikiddewo okuwa bakama be ebirago ku bazannyi be balina okuleeta mu ttiimu.

Celta Vigo 1 - 0 Leganés

Alavés 1 - 2 Eibar

Real Madrid 3 - 2 Málaga

Real Betis 2 - 2 Girona

Levante 0 - 5 Atl. Madrid

Valencia 1-1 Barcelona

Okuva Neymar lwe yayabulira Barcelona ku ntandikwa ya sizoni, babadde ku mulimu gwa kuyigga anaamuddira mu bigere era abamu ku bazannyi b'etunuulidde kuliko; Mesut Ozil okuva mu Arsenal, Philippe Coutinho (Liverpool) ne Antoine Griezmann (Atletico Madrid).

Messi yagambye nti ku basatu Coutihno yekka gw'alabamu omulamwa.

Mu katale k'abazannyi akasembyeyo, Liverpool yagobya Barcelona ssente n'etegeeza ng'omuzannyi waabwe bw'atatundibwa.

"Ozil ne Griezmann tebalina kye bagenda kutuyamba," Messi bwe yategeezezza. Kyokka kigambibwa nti ekisinza obutamwagaza Griezmann kubanga ayinza okulemesa musajja we, Luis Suarez okuzannya.

Mu ndagaano Messi gye yataddeko omukono ku Lwomukaaga nga November 25, agenda kusasulwa pawundi emitwalo 50 buli wiiki, sso nga ttiimu eneeyagala okumugula ng'endagaano eno tennaggwaako, erina okusasula pawundi obukadde 626. Endagaano eno eggwaako nga June 30, 2021.

Messi yeegatta ku Barcelona ng'alina emyaka 13, sso ng'omupiira gwe ogwasooka ku ttiimu enkulu yaguzannya wa myaka 17. REAL EYAGALA MARTIAL Omutendesi wa Real Madrid, Zinedine Zidane addukidde mu ManU ng'ayagala emuwe musaayimuto Anthony Martial.

Zidane agamba nti mwetegefu okusasula obukadde bwa pawundi 80 asobole okuggumiza ttiimu wamu n'okugizimbira abazannyi ab'ebiseera eby'omu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...

Bobi Wine ne Eddy Kenzo

Kenzo yeetonze ku bya Bobi ...

ABAWAGIZI ba Bobi Wine bongedde okuteeka akazito ku Eddy Kenzo okutuusa lwe yeetondedde omuntu wabwe.

NRM ekaayidde abeesimbyewo ...

AKAKIIKO k’ebyokulonda aka NRM kalabudde nga bwe kagenda okusazaamu eyeesimbyewo yenna anaasangibwa ng’akubye...

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...