TOP

Matia Lule musanyufu olw'omutindo gwa Hippos

Added 29th November 2017

NG’EMPAKA z’abali wansi w’emyaka 20 zibindabinda, omutendesi Matia Lule alina akamwenyumwenyu olw’omutindo abavubuka gwe boolesa mu kutendekebwa nti gumuwa essuubi ery’okukola obulungi okuva nga 6 okutuusa nga 16 omwezi ogujja e Zambia.

 Abamu ku bazannyi ba HIPPOS mu kutendekebwa e Namboole

Abamu ku bazannyi ba HIPPOS mu kutendekebwa e Namboole

Bya GERALD KIKULWE 

COSAFA U20 e Zambia

Olwa leero ku Lwokusatu abavuka 23 bazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lwa liigi ya babinywera okuwummulamu.

Batendekeddwa okumala essaawa 4 mu biwayi bya ssaawa bbiribbiri wabweru w’ekisaawe ky’e Namboole.

“Abaana bali mu mbeera nnungi,obwongo n’omubiri ndaba nga bikolera ddala kyenjagala ky’ensuubira nti singa tutambulira awo kijja kuba kilungi era tujja kukola bulungi e Zambia,” bwe yakakasizza Lule.

Agasseeko nti abazannyi Allan Okello, Mustafa Kiiza ne Muhammed Shabban(KCCA FC) Nicolas Kasozi (SC Villa) tebabadde mu kutendekebwa olwa leero olw’ensonga nti jjo baabadde mu liigi ya babinywera naye enkya mu kutendekebwa kw’okumakya baakubeerawo.

Uganda eri mu kibinja A ekirimu Zambia abategesi, Malawi ne Swaziland era ba HIPPOS bano baakusambamu omupiira gw’omukwano ne ttiimu enkulu eya Cranes nga tebannaba kugenda Zambia ku Mmande nga 4 December. 

ABATENDEKEDDWA LEERO

Mu ggoolo: Keni Saidi (Proline), Eric Kibowa (Vipers/ St Mary’s Kitende), Ali Mwerusi (Kibuli S.S / KCCA U-18 Team) Abazibizi: Fred Okot (URA), Geofrey Wasswa (Vipers), Bashir Askiu (Vipers / St Mary’s Kitende), Victor Matovu (Aspire Football Academy),

Abawuwuttanyi: Azake Luboyera (Ottawa Fury, USL), AbdulKarim Kasule (Express), Julius Poloto (KCCA), Frank ‘Zagga’ Tumwesigye (Vipers), Shafiq Kagimu (URA), Pius Obuya (Maroons), Gadaffi Wahabu (Onduparaka), Muhammed Ochaya Sharif (Express), Nicholas Kagaba (URA)

Abateebi:  Steven Mukwala (URA), Pius ‘Muzeei’ Wangi (Vipers), Nathanniel Atamba (Mbarara City U-18 Team), Hamis Tibita (BUL), Raymond Onyai (Kataka), Umar Kyeyune (JMC Hippos), Henry Tenywa (The School, Iganga)

EBIBINJA NGA BWE BIRI A:

Zambia, Uganda, Swaziland ne Malawi B: South Africa, Egypt, Mozambique ne Mauritius C: Angola, Lesotho, Namibia ne Zimbabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...