TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Minisita Bakkabulindi agonjoole vvulugu ali mu bikonde ne mu kubaka

Minisita Bakkabulindi agonjoole vvulugu ali mu bikonde ne mu kubaka

Added 30th November 2017

EMIVUYO mu kulonda kw’ebibiina by’emizannyo tekugenda kukoma okutuusa ng'akakiiko ka National Council Of Sports (NCS) kategedde enjawulo eriwo wakati w’abayima b’ebibiina n’enkiiko enfuzi !

 Minisita Bakkabulindi (wakati) ng'ali ne Aidah Nambuusi eyabadde yeesimbyeyo ku bwapulezidenti bwa UNF (ku kkono) ne Susan Anek, eyalondeddwa ku bwapulzidenti bwa UNF.

Minisita Bakkabulindi (wakati) ng'ali ne Aidah Nambuusi eyabadde yeesimbyeyo ku bwapulezidenti bwa UNF (ku kkono) ne Susan Anek, eyalondeddwa ku bwapulzidenti bwa UNF.

Okulonda kw’ekibiina ekiddukanya ebikonde ekya UBF n’okutuusa kati kwaziringitana oluvannyuma lw’abakungu omuli; Kenneth Gimugu ne banne abamu okwefuula byombi (abayima era abafuzi).

Ebyabadde mu kulonda kw’ekibiina ekiddukanya okubaka ekya UNF tebiyinza kuleka muzannyo guno waggulu.

Kijja kitya Suzan Anek ne banne okwefuula abayima ate ng'era be b’akakiiko akafuzi? Mu nzirukanya y’emirimu entuufu, akakiiko akafuzi (Executive) ke kalina okulonda amannya g’abakungu be baagala bafuuke abayima baabwe oluvannyuma amannya ago ne bagalinza ttabamiruka y’abakiise bagayise oba bagagaane.

Abakiise b’omuzannyo gwonna bwe bamala okuyisa amannya ago ag'abayima, olukiiko olufuzi nga lugaweereza mu NCS nga gateekebwa mu bitabo era singa wabaawo emivuyo mu kibiina ekyo, NCS n'egoba olukiiko olufuzi, etuula n’abayima b’omuzannyo ogwo ne batereeza ensonga.

Kati obuzibu bwonna obuli mu mizannyo ebiri; ebikonde n’okubaka bwava ku NCS kukkiriza abali ku nkiiko eziddukanya emizannyo egyo okuba nga be bayima ekintu ekitasoboka mu nsi yonna.

Okusinziira kuntaputa y’enzirukanya y’emirimu mu bibiina ekya UBF ne UNF, enkiiko enfuzi ze zikola amateeka era ze zigataputa, be bakola nga 'palamenti' era 'ng'ekitongole ekiramuzi'.

NCS esaanye ekimanye nti omulimu gw’abayima omukulu kwe kuwabula abakulembeze ababa baddukanya omuzannyo ogwo naye kati okusinziira ku biriwo mu bikonde n’okubaka ani abawabula?

Kyannaku okulaba ng'abakungu buli kiseera balumba Minisita ne bamuwa ebibakwatako nga bamusaba abalonde mu bitongole by’emizannyo kyokka eky'ennaku bwe batuukayo nga ‘basumagira’ NCS erina okukimanya nti Katonda teyakola nsobi okutonda omusajja n’omukazi.

Katonda yakizuula nti omukazi tasobola kuzaala yekka n’omusajja bwatyo kwe kubatonda buli omu akole omulimu gwe.

Ne mu nzirukanya y’emirimu okuviira ddala mu bibiina by’emizannyo wansi buli bakungu balina emirimu egy'enjawulo nga kino kiri bwe kiti okusobola okulung'amizibwa singa wabaawo ensobi.

Ng’omuyivu w’enzirukanya y’emirimu, nandisuubidde NCS okusaba buli kibiina abakungu omuli, abayima, boodi, ‘Executive’ ne CEO akulira emirimu era nga kuno kwe nandisinzidde okuwa ekibiina satifikeeti ekikakasa.

Ng’oggyeeko FUFA, Uganda Rugby Union ne Uganda Cricket Association tewali kibiina kirala kirina akulira emirimu ekivaako emivuyo nga bannabyabufuzi beekolera kye baagala okukkakkana ng’omuzannyo gufudde.

Minisita atwala emizannyo, Charles Bakkabulindi bw’aba ayagala emizannyo okutambulira mu nzirukanya y’emirimu ennungi, alina okugoba abamu ku bakungu abali mu NCS kuba abasinga ‘beebase’ Minisita asaanye yeebuuze nti kyandibadde kitya singa omuyizi yenna akoze ebibuuzo, UNEB emukkiriza okwegolola, asaanye ateeke NCS ku nninga lwaki bakkiriza Gimugu ne Anek okwegolola?

Minisita Bakkabulindi abadde akoze omulimu omulungi mu mizannyo egy'enjawulo kyokka NCS ebiseera ebisinga emuyiyeeyo.

Ebya UOC byaliwo, ebya FUFA ya Moses Magogo ne Dan Walusimbi byaliwo, ebya UBF ne UNF n’ebirala bingi.

Lwaki NCS ebeera nnyo ku ‘ttengerere’?

kateregaya@yahoo.com 0703286309

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...