TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Mulindwa asiimiddwa okutumbula emizannyo

Mulindwa asiimiddwa okutumbula emizannyo

Added 30th November 2017

EYALIKO pulezidenti wa FUFA era nga ye nnannyini Vipers SC, Lawrence Mulindwa agonnomoddwaako diguli okuva mw'emu ku yunivasite z'e Bungereza olw'okumusiima ebintu enkuyanja by'akoze mu kusitula embeera z'abantu ng'ayita mu byenjigiriza n'ebyemizannyo.

 Oludda olumu ku kisaawe ky'e Kitende. Mu katono ye Mulindwa

Oludda olumu ku kisaawe ky'e Kitende. Mu katono ye Mulindwa

Yunivasite eyitibwa Commonwealth London Graduate School erina ekitebe e London ekya Bungereza y'egenda okutikkira Mulindwa diguli eno eyitibwa (Honorary Degree of Doctorate) ku mukolo ogutegekeddwa mu kibuga Dubai mu United Arab Emirates ku Lwokubiri nga December 12.

Diguli eno eweebwa omuntu akoze ebintu eby'enjawulo okutumbula n’okukyusa embeera z’abantu ng'abakolera ebintu ebibatwala mu maaso n’okubayambako okwekulaakulanya mu bulamu obwa bulijjo.

"N'obuwombeefu bungi nkusaba okkirize obeewo ku mukolo gwe tugenda okutikkirira abantu ab'amaanyi abaliko kye bagasse ku nsi. Ssebo oli omu ku abo abasitudde ensi nga bayita mu byenjigiriza, ebyemizannyo n'emisingi emirala egiyiyambye okutumbula abantu," ebbaluwa okuva mu yunivasite y'e London ng'eriko omukono gwa Rai Sadiksha akulira enteekateeka eno bwe yalambise.

Olukung'aana mw'anaatikkiririrwa lutuumiddwa " Dubai Leadership Summit". Yagasseeko nti, "Ebimu ku bye tukwebaza gwe mutima ogwagaliza, omugabi n'ogulumirwa abalala mu kaweefube yenna gw'okola okulaba ng'abantu baba mu mbeera ennungi."

"Ndi musanyufu nnyo alw'abantu abavaayo ne basiima Katonda by'ansobozesa okukola. Eky'okuba ng'abansiimye ku luno Bazungu ng'ate nze nva mu Afrika ey'Abaddugavu, kabonero akooleka nti buli akola ebirungi teyeekweka era ndi omu ku bagasse ettoffaali ly'enkulaakulana mu nsi," Mulindwa bwe yayogedde ku kitiibwa ekimuweereddwa.

Yunivasite eno okusiima Mulindwa yavudde ku bintu by’akoze okuli okuzimba ekisaawe kya St Mary’s Stadium n’okuteekawo ttiimu y’omupiira (Vipers) eyamba abazannyi n’abantu abalala abagibeerako okutumbula ebitone byabwe n’okufuna emirimu, okusomesa abaana ku bwereere ng’ayita mu kitongile kye ekya Mulindwa Foundation ekiwa abaana basale, n'ebirala.

Mulindwa, nga ye nnannyini ssomero lya St. Mary's SS Kitende, yaliko pulezidenti wa FUFA wakati wa 2004 ne 2013, okubeerako omumyuka wa pulezidenti wa CECAFA wakati wa 2014 ne 2016.

Mulindwa era yaliko mmemba ku kakiiko akategeka empaka z’abali wansi we myaka 20 (CAF Organising Committee of the U-20 African Championship).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabalabirizi Kazimba ng’abuulira mu kusaba eggulo.

Abaawanguddwa temwekwasa ba...

SSAABALABIRIZI w'ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu asabye baminisita ba Pulezidenti Museveni abaawanguddwa...

Ababaka ba NUP abaalondeddwa; Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North (ku kkono), Seggona owa Busiro East,Mathias Mpuuga ne Abdala Kiwanuka (ku ddyo) bwe baabadde bagenda okwogerako ne bannamawulire.

Aba NUP bafunye obujulizi b...

ABAMU ku bakulembeze ba NUP n'ababaka abaawangudde akalulu bategeezezza nga bwe balina obujulizi mu bitundu byabwe...

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...