
Abazanyi ba Airtel Kitara
Bya GERALD KIKULWE
Leero (Lwakuna)mu Big League
Kira UTD FC – Kireka UTD FC, Namugongo
Water FC – Sun City FC, Kyambogo
Ntinda UTD FC – Synergy FC, Kamwokya
Leero (Lwakuna) Airtel Kitara FC ekyazizza Nyamityobora FC bwe bali ku mbiranyi ey’okusiguukulula Kira UTD FC ku ntikko y’ekibinja wabula Nyamityobora ekyakuumye likodi y’obutakubwamu n’obutateebwamu sizoni eno era ng’ayagala kugisigaza newankubadde Kitara nayo yeewera.
“Nyamityobora yatuyisa bubi sizoni ewedde bwe twabakyalira e Mbarara ne batusinsimula ggoolo 4-0 wabula ku luno twagala kubalaga nti kye baatukola tusobola okukibatuusaako ate twagala n’okusaanyawo likodi yaabwe ey’obutebwamu n’obutawangulwa sizoni eno,” Anthony Ssekitto atendeka Kitara FC bwe yaweze.
Wabula ne Alex Isabirye atendeka Nyamityobora agamba nti eno egenda kuba nga fayinolo kuba tagenda kukkiriza kubasangulizaako ttoomi.
Airtel Kitara eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 20 emabega wa Kira United FC abakulembedde n’obubonero 22. Wabula yo Nyamityobora eri mu kyakusatu obubonero 19.
Emipiira emirala egigenda okuzannyibwa
Bumate UTD FC – Kabale Sharp FC, Bundibujjo
Greater Masaka UTD FC – Kansai Plascon FC, Masaka
Airtel Kitara FC – Nyamityobora FC, Hoima
Amuka Bright Stars FC – Agape SS FC, Lira
Paidha Black Angels – Kataka FC, Zombo
Kyetume FC – Kamuli Park, Nakisunga
Lira UTD FC – Doves All Stars FC, Lango
Bukedea TC FC – Busia Fisheries FC, Bukedea