
Kapiteeni wa Hippos Shaban Muhammad ng'ali mu kutendekebwa ne banne
Bya ISMAIL MULANGWA
Enkambi ya Hippos yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lwa kapiteeni waayo Shaban Muhammad, Allan Okello, Mustafa Kizza okubeegatttako mu kutendekebwa kwa eggulo ku Lwokuna saako ne Azake Luboyera, azannyira mu kiraabu ya Ottawa Fury e Canada wamu ne Victor Matovu azannyira mu Aspire e Qatar.
Matia Lule mugumu kuba abazannyi bano bonna yali abalezeeko mu ngalo ze era nga bazannyira wamu nga ekitole.
Ttiimu esitula ku Mmande nga 4/12/2017, wabula nga tennasitula yaakuzannya omupiira ne ttiimu egenda okuzannya CECAFA leero ku Lwokutaano ku ssaawa 10 ez'olweggulo mu kisaawe e Namboole.