TOP

Cranes eggulawo na Burundi mu za CECAFA

Added 1st December 2017

OLUVANNYUMA lw’eggwanga lya Zimbabwe, Uganda Cranes ly’ebadde erina okuggulawo nalyo empaka zino okubivaamu, akakiiko akaziddukanya kakoze ennongoosereza mu mipiira eginaasambibwa nga kati Cranes yaakuggulawo ne Burundi ku Mmande eno mu kisaawe kya Kakamega e Kenya.

 Abamu ku bazannyi ba Cranes egenda okwetaba mu CECAFA nga bali mu kutendekebwa

Abamu ku bazannyi ba Cranes egenda okwetaba mu CECAFA nga bali mu kutendekebwa

Bya GERALD KIKULWE

2017 CECAFA Senior Challenge Cup

Empaka zino ziggulwawo mu butongole ku Ssande eno nga 3-17 ku bisaawe okuli Kakamega, Machakos ne Nakuru.

Nicolas Musonyi, ssaabawandiisi w’olukiiko olutegesi akakasizza enteekateeka zonna nga bwe ziwedde era n’agumya ttiimu zonna obuteeraliikirira olwa Zimbabwe okuva mu mpaka zino nga yeekwasa eby’okwerinda mu Kenya ebitannatereera, nti buli kimu kiri mu mbeera nnungi.

Uganda be balina ekikopo kino okuva mu 2015 era nga be bakyasinze okukiwangula emirundi mingi (14) nga baagala kya 15 omwaka guno.

EBIBINJA NGA BWE BIRI

 A: Kenya, Rwanda, Libya, Tanzania, Zinzibar

 B: Uganda, Burundi, Ethiopia, South Sudan

ENSENGEKA Y’EMIPIIRA

Ssande nga 3 December 2017

Kenya – Rwanda, Kakamega

Libya – Tanzania, Machakos

Mmande  nga 4 December

Uganda – Burundi, Kakamega

Lwakubiri nga 5 December

Zanzibar – Rwanda, Machakos

Kenya – Libya, Machakos

Ethiopia – South Sudan, Kakamega

Lwakuna nga 7 December

Tanzania – Zanzibar, Machakos

Rwanda – Libya, Machakos

Ethiopia – Burundi, Kakamega

Lwakutaano nga 8 December

Uganda – South Sudan, Kakamega

Lwamukaaga nga 9 December

Rwanda – Tanzania, Machakos

Kenya – Zanzibar, Machakos

Ssande nga 10 December

Ethiopia – Uganda, Kakamega

Mmande nga 11 December

Libya – Zanzibar, Machakos

South Sudan – Burundi, Kakamega

Kenya – Tanzania, Machakos

Lwakuna nga 14-15 December

Semi Fayinolo

Ssande nga 17 December

Okufuna owookusatu ne Fayinolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...