TOP

Basena agenze awaga-Tetulina gwetutya

Added 3rd December 2017

Basena agenze awaga-Tetulina gwetutya

 Basena (ku ddyo) ng’awa Bernard Muwanga ebiragiro mu kutendekebwa e Namboole.

Basena (ku ddyo) ng’awa Bernard Muwanga ebiragiro mu kutendekebwa e Namboole.

CECAFA Senior Challenge Cup

Leero mu kibinja A

Kenya - Rwanda, 8:00 e Kakamega

Libya - Tanzania, 10:00 e Machakos

Enkya (Mmande) mu Kibinja B

Uganda - Burundi, 10:00 e Kakamega

Ku Lwokubiri;

Zanzibar - Rwanda, 8:00 e Machakos

Kenya - Libya, 10:00 e Machakos

Ethiopia - S. Sudan e Kakamega

UGANDA Cranes yasitudde eggulo (ku Lwomukaaga) okwolekera ekibuga Kakamega mu bugwanjuba bwa Kenya okwetaba mu mpaka z’omupiira gw’amawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa, eziggyibwako akawuuwo leero.

Omutendesi Moses Basena yakuutidde abazannyi okufiirawo okwongera ku likodi ya Uganda ey’ebikopo 14 n’okulaba nga balwanira ennamba ku ttiimu gy’anaatwala mu za CHAN omwaka ogujja.

Uganda eri mu kibinja B ne Ethiopia, South Sudan ne Burundi nga bonna baakuzannyira mu kibuga Kakamega ekisangibwa mu bugwanjuba bwa Kenya.

Cranes, yasemba okuwangula empaka zino mu 2015 mu Ethiopia wabula ng’ez’omwaka guno baakuziggulawo ne Burundi oluvannyuma lwa Zimbabwe gye yabadde etandika nayo okuwandiikira aba CECAFA nti evuddemu nga yeekwasa embeera y’ebyokwerinda mu Kenya gye bagambye nti tematiza. “Tugenze naye abazannyi bange balina okukimanya nti buli mupiira gulinga fayinolo gye tuli,” Basena bwe yategeezezza.

Yayongedde n’ategeeza nti, “Sagaala kuteeka ku bazannyi bange puleesa naye balina okukimanya nti mawanga gonna omunaana agasigadde gatunuulidde Uganda.

Ng’oggyeeko Libya abasigadde tubeesobolera.” Basena era yategeezezza nga bw’agenda okukozesa empaka zino okwongera okwetegereza abazannyi b’agenda okukozesa mu mpaka za CHAN ezigenda okubeera e Morocco omwezi ogujja. “Empaka zino era ng’enda kuzikozesa okwongera okusunsula abazannyi abanannyamba okukola obulungi mu mpaka za CHAN omwezi ogujja e Morocco.

Oyo yenna anazannyisa ekyejo, wadde ng’alina talenti, ennamba ku ya CHAN agyerabire,” Basena bwe yagambye. Uganda eyangudde emirundi 2 (1989 ne 2009) kw’egyo 6 Kenya gy’etegese ekikopo kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...