TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes esanze Zanzibar ku semi za CECAFA

Cranes esanze Zanzibar ku semi za CECAFA

Added 12th December 2017

UGANDA Cranes yayongedde okufuna essanyu eggulo mu CECAFA eyindira e Kenya bwe yasigadde ku ntikko y’ekibinja oluvannyuma lwa Burundi okulemwa okuwangula South Sudan. Baalemaganye 0-0.

 Hood Kaweesa (ku kkono) ng'agaludde okusindika ennyanda mu maaso ga Feyissa Abebe owa Ethiopia mu gusembayo mu kibinga mu mpaka za CECAFA eziyindira e Kenya. (STEPHEN MAYAMBA)

Hood Kaweesa (ku kkono) ng'agaludde okusindika ennyanda mu maaso ga Feyissa Abebe owa Ethiopia mu gusembayo mu kibinga mu mpaka za CECAFA eziyindira e Kenya. (STEPHEN MAYAMBA)

Kenya 1-0 Tanzania

Libya 1-0 Zanzibar

South sudan 0-0 Burundi

Lwakuna (semi) e Kisumu:

Kenya - Burundi, 10:00

Lwakutaano (semi) e Kisumu:

Uganda - Zanzibar, 10:00

Amaliri gano era gaawonyezza Cranes okukwata bannyinimu aba Kenya ku semi nga kati baakuttunka na Zanzibar, eyakutte ekyokubiri mu kibinja A.

Kenya ye yakulembedde kino oluvannyuma lw’okuwangula Tanzania (1-0). Empaka zino za mawanga ga buvanjuba n’amasekkati ga Afrika era nga Uganda ye kyampiyoni waazo.

Olwategedde nti bakwata Zanzibar ku semi, omutendesi wa Cranes, Moses Basena yalaze essanyu olw’okukulembera ekibinja n’agattako nti yaatandikiddewo okwetegekera Zanzibar gye yagambye nti nayo si nnyangu.

‘Ekibinja tekibadde kyangu naye kati ebyo bikadde.

Ekipya kya kwetegekera Zanzibar kubanga nayo omupiira gwayo gufaananamu ogwa Ethiopia ate emirundi gye tugisanze tetubeeredde nnyangu.

Ennaku zino okutuuka ku Lwokutaano zaakuyamba abazannyi bange okuwummula obulungi baddemu endasi ezisamba semi,” Basena bwe yategeezezza.

Ku ky’abazibizi Timothy Awanyi, Isaac Muleme ne kapiteeni Benard Muwanga, abatagenda kuzannya semi olw’ekkoligo lya kaadi, yagambye nti abazannyi abalala abatannalaga busobozi bwabwe bafunye omukisa.

Yagambye nti Awany ne Muleme asuubira kubasikiza Aggrey Madoi ne Shafi k Bakaki.

Mu 1995, Zanzibar yawangula Cranes B (1-0) ku fayinolo eyali ya CECAFA e Nakivubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...