TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Golola alangidde munne amasulubu ne beegwa mu malaka

Golola alangidde munne amasulubu ne beegwa mu malaka

Added 19th December 2017

Ebigambo by’obusagwa Moses Golola bye yayogeredde Abu Kikenwa byamuzaalidde akabasa bweyamuyise ‘Masulubu’ ekyaggye munne mu mbeera ne beegwa mu malaka.

 Golola ku ddyo ng'awanda omuliro nga bw'agenda okukuba Abu Kikenwa ku kkono amwase  amasulubu. Ekif-FRED KISEKKA

Golola ku ddyo ng'awanda omuliro nga bw'agenda okukuba Abu Kikenwa ku kkono amwase amasulubu. Ekif-FRED KISEKKA

Bya Fred Kisekka

Ababiri bano babadde batongoza lulwana lwabwe ku woteeri ya ‘Zion Hotel’ kyokka Golola yayogeredde Kikenwa ebisongovu ekyabaviiriddeko okwekasukira amacupa.

 “Nze gw'oyita omuzannyi wa katemba nkubye buli njovu ezze enneeriggyako wano mu Uganda. Ng'enda kukuba ago amasulubu ngaase nga bwe nnakola Tugume ne Mugula," Golola bwe yagambye.

Ezimu ku cupa ezaayasiddwa Golola oluvannyuma lw'okuyita Kikenwa gw'agenda okuttunka naye nti Masulubu awedde emirimu.

Bino bye bigambo ebyaggye Kikenwa mu mbeera n'akuba emmeeza ekyabaviirideko okwekasukira amacupa.

Ababiri bano baakuttunka mu lulwana lw’omusipi mu buzito bwa ‘Cruser weight’ olugenda okubaawo nga March 13, 2018 ku Freedom City.

Pulezidenti w'ensambaggere, Hassan Sekirime ku kkono, Abu Kikenwa, Malik Kaliisa ne Golola ku ddyo mu kutongoza olulwana lwabwe. Ekif: FRED KISEKKA.

Mu nnwana endala ezaateereddwaawo mulimu olwa; Umar Semata ne Abdul Afidhi Karim enzaalwa ya Algeria, Shakey Mubiru ne Sharif Bukenya, Brenda Masendi ne Jackie Nassimbwa wamu n'endala. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...