TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Teletubbies ewangudde ekikopo nga tekubiddwaamu

Teletubbies ewangudde ekikopo nga tekubiddwaamu

Added 19th December 2017

TELETUBBIES ey'abali wansi w’emyaka 11 oluvannyuma lw’okuggyibwamu abazannyi musanvu olw’ebipapula tekyabayigudde ttama bwe baawangudde ekikopo nga tebakubiddwaamu mupiira yadde ogumu.

 Abazannyi ba Teletubbies nga bajaganya olw'ekikopo kye basitukiddemu mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 11. EKIF: SAMSON SSEMAKADDE

Abazannyi ba Teletubbies nga bajaganya olw'ekikopo kye basitukiddemu mu mpaka z'abali wansi w'emyaka 11. EKIF: SAMSON SSEMAKADDE

Bya SAMSON SSEMAKADDE

First Touch Soka 0-5 Teletubbies Kids League

Irish Ashim Kato, omutendesi wa ttiimu eno agamba:

" Abasambi bange  musanvu okuli; Joshua Jjingo, Abdalla Sougi, Ral Ayom, Luka Mawien, Marko Biong, Luka Deng ne Daniel Mukolo baalemesebwa okufuluma ebweru w’eggwanga naye tekyalobodde ttiimu yaffe kuwangula kikopo kino era nina essuubi ddene mu basambi bange nga tuli mu nteekateeka ebafunira empapula ezibakkiriza okutambula mu nsi yonna gye baba beetaaze".

Mu kibinja kye balimu baakuba ttiimu z’e Kenya bbiri okwali; Syokimau 8-1, Soka Afrika 7-0, ne Arusha Soccer Centre 3-0, baddamu okusisinkana Moi International School B ku ‘quarter’ ne bamukuba 1-0 olwo ku ‘semi’ ne bawangula Moi A 2-1.

Ku z’akamalirizo baakubye First Touch Soka ey’e Kenya 5-0 ne basitukira mu kikopo kya Chipukizi Cup eky'abali wansi w’emyaka 11 omwetabiddwa ttiimu ezisoba mu 20 okuva mu Tanzania, Rwanda, Kenya, Zanzibar ku kisaawe kya Arusha Sports Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...