TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Oluzannya olusooka olwa Azam Premier League luwedd Villa ekyali ku ntikko

Oluzannya olusooka olwa Azam Premier League luwedd Villa ekyali ku ntikko

Added 24th December 2017

Oluzannya olusooka olwa Liigi ya Uganda Azam Premier League luweddeko mu ggandaalo lya Sekukkulu nga SC Villa ekyali ku ntikko oluvannyuma lw’okulemeganira ku bugenyi ne Jinja Kirinya ggoolo 1-1.

 Julius Poloto owa KCCA (ku kkono) ng'ayita ku Omar Hitimana owa Express mu liigi Dec 23 2017. KCCA yawangudde 1-0. (ekif:Silvano Kibuuka)

Julius Poloto owa KCCA (ku kkono) ng'ayita ku Omar Hitimana owa Express mu liigi Dec 23 2017. KCCA yawangudde 1-0. (ekif:Silvano Kibuuka)

Ebyavudde mu nzannya za liigi ya Azam:

KCCA FC 1 – 0 Express FC

Jinja Kirinya 1 – 1 SC Villa

Vipers SC 3 – 0 Proline FC

Oluzannya olusooka balumazeeko nga bakulembedde n’obubonero 32 mu mipiira 15 nga ba kyampiyooni n’omwaka oguwedde aba KCCA FC bali mu kyakubiri.

Yo KCCA eyongedde okusannyalaza emikisa gya Express FC okuwona okusalwako bw’egikubidde ku bugenyi e Lugogo ku kisaawe eky’ekiwempe.

Wadde nga Express yasambye omupiira ogumatiza abawagizi, Tito Okello eyayingiziddwa mu kitundu ekyokubiri yateebye Express omutwe ogwavudde mu kkoona mu ddakiika ey'e 75 abawagizi n’abasambi ne bannyogoga.

Omutendesi wa Express, Shafiq Bisaso  yagambye nti ekyo tekimuyigudde ttama okuggyako olutunuulira oluzannya olwokubiri n’amaanyi era n’asuubiza nti tebajja kusalwako.

Yo Vipers SC yasajjalaatidde e Kitende ku butaka n’ekuba Proline 3-0.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...