TOP

FUFA esiimye Basena

Added 28th December 2017

NGA FUFA yeetegekera okulangirira omutendesi wa Cranes enkya ku ssaawa 8 ez’omu ttuntu ku kitebe e Mengo, abadde omutendesi ow’ekiseera Moses Basena asiimiddwa n'aweebwa omukisa okwetaba mu musomo gw’obutendesi mu America.

 Moses Basena

Moses Basena

Bya GERALD KIKULWE

Kino FUFA ekikoze okwebaza Basena emirimu gy’akoledde Cranes bukya Micho agisuulawo okuli okugiyingiza empaka za CHAN 2018, CECAFA n’okulwana okulaba nga ttiimu yeetaba mu mpaka za World Cup e Rusia naye ne kigaana era wano FUFA w’esaliddewo okumusasulira agende mu America ku ntandikwa y’omwaka ogujja yeetabe mu musomo gw’obutendesi okusobola okwongera ku mpapula ze ate n’obukugu mu butendesi.

Enkola eno FUFA egitandise ne Basena wabula nga  yaakusindikanga abatendesi okusinziira ku bwetaavu okusobola okulinnyisa omutindo gw’abatendesi ba Uganda.

Basena 52, abbinkana n’omufalansa Sebastien Desabre 41, Johnathan McKinstry 32, (Nothern Irish) Emilio Ferrera 50, (Beligian) okufunako ani agenda okubeera omutendesi wa Cranes okutandika n’olunaku lw’enkya okusinziira ku mwogezi wa FUFA Ahmmed Hussein.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...