TOP

Baddiifiri bakubiriziddwa okukuuma omutindo

Added 28th December 2017

BADDIFIIRI b’eddaala lya FIFA bakubiriziddwa okwefaako okukuuma omutindo n’empisa bye bijja okubakuumira ku mutendera gwe baliko.

 Moses Magogo pulezidenti wa FUFA ng'akwasa ddifiiri Lydia Nantabo bbaagi ya FIFA ey'omwaka 2018. Nantabo y'omu ku baddiifiiri 21 abafuunye bbaagi ez'omutendera gw'ensi yonna ez'abakwasiddwa ku Lwokusatu nga December 27 ku kitebe kya FUFA e Mengo. (STEPHEN MAYAMBA)

Moses Magogo pulezidenti wa FUFA ng'akwasa ddifiiri Lydia Nantabo bbaagi ya FIFA ey'omwaka 2018. Nantabo y'omu ku baddiifiiri 21 abafuunye bbaagi ez'omutendera gw'ensi yonna ez'abakwasiddwa ku Lwokusatu nga December 27 ku kitebe kya FUFA e Mengo. (STEPHEN MAYAMBA)

Moses Magogo pulezidenti wa FUFA ye yakubirizza baddifiiri abaafunye baagi za FIFA ezibakkiriza okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna ez’omwaka 2018 nga zino zaabakwasiddwa eggulo ku Lwokusatu (Dec 27) ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Baddifiiri 21 omugatte nga kuliko abakyala 5  be baakwasiddwa baagi zaabwe.

Kubano era 18 ba mupiira ogwa bulijjjo ogw’ebigere ate bannaabwe abalala 3 balamula mupiira gwa ku musenyu  ogwakazibwako erya ‘beach soccer’.

Baddifiiri baakufuna ebyambalo

Magogo era yabategeezezza nti okutandika n’omwaka ogujja baddifiiri bonna abali ku mutendera ogwa FIFA bagenda kubakolera ekyambalo ekijja mu kitiibwa kyabwe naddala nga batambudde wabweru w’eggwanga ku mirimu emitongole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...