TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omutendesi wa Cranes omuggya awera kukyusa mupiira gwa Uganda

Omutendesi wa Cranes omuggya awera kukyusa mupiira gwa Uganda

Added 29th December 2017

“Nzize kukyusa mupiira gwa Uganda era hhenda kusooka kuyigiriza bazannyi mupiira gwa kulumba na ngeri gye bayinza okwegabamu,” Desabre bwe yategeezezza ng’asisinkanye abazannyi mu kutendekebwa okwasoose e Namboole.

 Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya, Sebastien Desabre ng'alaga omujoozi gw'obutendesi bwa Uganda

Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya, Sebastien Desabre ng'alaga omujoozi gw'obutendesi bwa Uganda

OMUZUNGU Sebastien Desabre, eyalidde obutendesi bwa Cranes, asuubizza Bannayuganda omupiira ogunyuma bw’agambye nti, “Ndi wa kawoowo era sinyumirwa kufuna buwanguzi na nzannya ya ‘ddiimuula.”

Desabre, eyatandise emirimu ku Lwokuna amangu ddala nga yaakamala okwanjulirwa bannamawulire ku kitebe kya FUFA e Mengo, yagambye nti yonna gy’atendeseeko amanyiddwa ku ‘kawoowo’ n’ajuliza ttiimu nga Esperance (Tunisa), Wydad Casablanca (Morocco) ne Ismaily (Misiri) ze yagambye nti zizannya mupiira gwa kulumba.

Desabre, eyayanjuddwa Edgar Watson, akulira emirimu mu FUFA, yeewaanye nti ttiimu ezo zonna yatuuka okuzivaamu ng’abawagizi b’endala bangi bakyuse okuziwagira.

“Nzize kukyusa mupiira gwa Uganda era ng'enda kusooka kuyigiriza bazannyi mupiira gwa kulumba na ngeri gye bayinza okwegabamu,” Desabre bwe yategeezezza ng’asisinkanye abazannyi mu kutendekebwa okwasoose e Namboole.

Yasabye abazannyi okubeera abawulize mu buli kintu nti kuba obukodyo bw’aleeta bwetaaga omuzannyi ng’atadeyo ebirowoozo okubutegeera obulungi. “Tulina okukolera awamu kuba obuwanguzi tubutuukako ffenna nga ttiimu sso si nze nzekka,” Desabre bwe yayongeddeko.

Abazannyi bonna abaayitibwa beeyanjudde mu kutendekebwa kuno ekyasanyudde Desabre n’alabula nti tajja kukkiriza atuuka kikeerezi, eyeesaasira n’atawa mujoozi gwa ttiimu ya ggwanga kitiibwa.

Olwatuuse e Namboole, yatunuulidde abazannyi abaayitiddwa ng’alaba batono nnyo n’asaba FUFA eyongere eyite buli muzannyi gw’erowooza nti alinamu akapiira amugezese asobole okulondamu b’ayagala.

Mu kusooka, Moses Basena eyagobeddwa abadde yayita abazannyi 30, Desabre n’alagira bongerweko alondemu. Mu bamu ku bazannyi abaayongeddwaamu kuliko; Godfrey Lwesibawa, Ambrose Kirya ne Samson Kirya, Martin Kizza (Villa), Isaac Kirabira (KCCA), Moses Waiswa (Vipers), Rahmat Senfuka (Police), Abraham Ndugwa (Masavu) Mussa Esenu (Kirinya), Seif Batte (Bright Stars), Patrick Mbowa (URA), Savio Kabugo (Proline) n’abalala.

AGAANYI EKISAAWE LWA MUTINDO;

Olwatuuse ku kisaawe e Namboole eky’ebweru ttiimu gye yatendekeddwa, Desabre n’alagira FUFA okunoonya ekisaawe ekirala kuba Namboole kirimu obuswa obuyinza okulemesa abazannyi be okuseetula obulungi omupiira nga bw’ayagala.

Yagambye nti buli lw’otendekera abazannyi mu kisaawe ekitabakkiriza kukola by’obagamba, kitegeeza nti ne bwe batuuka ku mupiira gw’ekigendererwa, tebasobola kuzannya bulungi nga bwe wateeseteese.

NNEESUNGA OKUKOLA N'OMUZUNGU – MATIA LULE

Lule eyaweereddwa ogw’okumyuka Desabre, yategeezezza nga bwe bali abasanyufu okukolagana naye era balinze okubaako bye bamuyigirako.

GYE YAVUDDE BAMUKAABIRA;

Okuva FUFA bwe yalangirira erinnya lya Desabre ku lukalala lw’abatendesi abana abasembayo, kiraabu ya Ismaily mwe yavudde balaze ennaku okuviibwako omutendesi abadde abawadde essuubi ly’okuwangula ekikopo kya Misiri (Egyptian Premier League )kye basemba okuwangula mu 2002.

Ismaily yagirese ku ntikko ya liigi nga mu mipiira 15 ewangudde 10 n’eremagana 4 ne bakubwamu gumu.

Omupiira Desabre gwe yasembyeyo okutendeka, baawuttudde El Rega (5-0) ku Lwokusatu.

Okusinziira ku kiwandiiko kye baatadde ku mukutu gwa ttiimu yaabwe, abakulira kiraabu baatudde ne Desabre ne bamusaba asigale wabula ne yeerema ng’ayagala kutendeka Cranes.

Ku Lwokuna ku ssaawa 8:00 mu ttuntu, lwe yayanjuddwa ng’omutendesi wa Cranes n'aweebwa endagaano ya myaka esatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....