TOP

Cranes ebadde teyeetaaga mutendesi mugwira

Added 31st December 2017

Cranes ebadde teyeetaaga mutendesi mugwira

 NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

NKUBUULIRA ALAALI ne George Ssimwogerere

UGANDA ng’eggwanga likyetaaga okwevumbula oluvannyuma tukole ekituufu mu kiseera ekituufu. Micho abadde mu Uganda emyaka egisukka mu 10 era kino kimuwa enkizo okufaanana nga Munnayuganda. Ekirala abadde n’abazannyi abatendekeddwa bakooki abalungi kuba nabo (bakooki) baatendekebwa bakooki abalungi. Mu Uganda mulimu abatendesi be twandibadde tuwa obutendesi bwa Cranes ssinga FUFA ebadde eyagala Uganda okuba n’ennono yaayo.

Bwe tugendera ku bumanyi, waliwo bakooki ababadde batendeka omupiira ne mu mawanga agatwetoolodde. Abo tuba tulina okubawa enkizo era twandibayise bapulofeesono kuba babadde bweru wa ggwanga nga bakola.

Baasamba omupiira ku mutendera gwa waggulu nga mu bano mulimu; Ssimbwa, Timbe, Ssimwogerere, Mayanja, Nkata, Nsimbe, Basena ne Makumbi. Waliwo abakoze ennyo mu Uganda nga tebatendekangako bweru wa ggwanga okuli; Mutebi, Mubiru, Wasswa Bbosa, Golola, Anyau, Matia Lule ne Ayiekoh ‘Mbuzi’. Abalala balina kumyuka abo era kino kye kyandiraze FUFA nti ezimbye entambula y’ebyekikugu naye si kussaawo batendesi bawulize gy’eri naye ng’omutindo gwabwe gwa kibogwe.

Kiraga nti FUFA ntiitiizi teyinza kuzimba mupiira kuba kino kye kyandibadde ekiseera ekituufu okweggyako abagwira kuba tewali njawulo Mufalansa Desabre ky’akola ffe kye tutasobola kukola. Olwo mbu Kalusha Bwalya okumufuna yakoze nnyo?

Omutendesi DesabreEdward

 

Edgar Watson ne banne babadde tebasobola kumuleeta? FUFA erengezzezza nnyo abaddukanya omupiira mu ggwanga akubalaga nti tebamanyi kye bakola. Olina bakooci abalungi nga ggwe ky’olina okukola kubeesiga obawe ttiimuzonna bakolere wamu. Emisomo egya buli myezi 3 bakooki gye babadde bagendangamu okuggyako okutimba eggwanga bbula, giyambye ki?

Uganda ebaddemu abagwira bameka era bakoze ki? Oyinza okugamba nti Omuzungu wa Vipers agiyambye nnyo okusinga Golola? Mmwe mwennyini mwe mutyoboola ekitiibwa ky’abatendesi Bannayuganda.

Micho yafunanga ssente mmeka? Basena abadde afuna mmeka? Kituufu bagamba akusinga akukubya gw’olina, bakooci be twandisuubidde okudda mu bigere by’Omuzungu waakiri be bandibadde abamyuka be FUFA emuwe endagaano ya myaka 2 nga bw’ezimba owaffe.

Nabagambako nti toyinza kuddira Kefa Kisala amyuke Micho kuba, Micho bw’agenda Kisala tasobola kufuulibwa mutendesi wa Cranes mujjuvu.

Kye kimu FUFA ky’ekoze ku Matia Lule, Omuzungu bw’anaagenda banaamukuza n’afuuka omutendesi wa Cranes omujjuvu? Waliwo abatendesi ababadde basaana omulimu ogwo oba mulonde ku babadde bavuganya bongere okufuna obukugu Omuzungu bw’anaagenda nga basuumuusibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....