
Kitunzi wa DSTV, Tina Wamala ku ddyo, Ada Magezi, Innocent Kihika, Annet Nakiyaga owa Uganda Breweries ne John Kato ku kkono mu kutongoza empaka.Ekif-FRED KISEKKA
Bya Fred Kisekka
Empaka zino ez’omulundi ogw’okubiri zaatongozeddwa ku ‘Serena Hotel’ mu Kampala kkampuni ezenjawulo ezaakulembeddwa DSTV mwe zaaweereddeyo ensimbi okuyamba okutegeka omuzannyo guno.
Akulira akakiiko akategesi, Innocent Kihika yagambye nti empaka zaakuwa omukisa abazannyi ba Golf okwolesa ebitone byabwe y'ensonga lwaki zikugira abazannya eza pulofesono okuzeetabamu.
Empaka zino era ze zisunsula abazannyi abalina okuzanya mu mpaka eziri ku kalenda y’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya ‘UGU’ okuli Uganda Golf Open n’endala.
Abazannyi abasukka mu 200 be basuubiirwa okuzeetabamu nga zaakuyindira ku kisaawe kya Entebbe Golf Course wakati wa January 13 ne 18.