TOP

Abazannyi b'omupiira bokka tebasobola kweyimirizaawo

Added 14th January 2018

Abazannyi b’omupiira bokka tebasobola kweyimirizaawoNKUBUULIRA

NZE ebbanga lye mmaze mu mupiira, ndabiddemu ebirungi bingi n’ebibi ebiwera era kati ndi mukulembeze ate omusomesa waagwo. Kino kimpa enkizo okukubuulira ng’omukugu okusinziira ku bumanyirivu bwe nnina n’ensonga lwaki tuli batono abakyalina embavu ezoogera ku mupiira.

Nabadde ku mukutu gwa leediyo ogumu nga kuliko pulogulaamu eyogera ku mbeera y’abazannyi b’omupiira. Abawagizi n’omukubiriza wa pulogulaamu baabadde ebirowoozo babikubaganya naye nga gye bawunzikira bagamba nti abazannyi tebeetegekera, abalala nti ssente baazikozesa bubi n’ebirala bingi. Ka nkozese omuko gwange guno mbannyonnyole.

Waliwo abalowooza nti omupiira bagutandikira mu masomero oba ku byalo mu myaka emito. Abamu bazannyi abato balemwa n’okusoma olwa puleesa emussibwako mu mupiira era ebintu ebimu abivaako si lwa kwagala naye olw’amateeka g’omupiira. Amateeka omuli; obutanywa bitamiiza, okwesonyiwa eby’abakazi, amasanyu, okwewala mikwano gy’abawagizi egimu, obulungi ,okwebaka amangu n’ebirala gakukugira okukola awalala n’osigalira kubeera mu nnyumba yo.

Omuzannyi abeera n’embiranye n’abawagizi ba ttimu endala nga tebamwagala ekimukugira okukola emikwano n’okukolera mu bifo eby’olukale nga Owino oba awalala kuba abeera wa njawulo mu bantu. Embeera bwetyo ekuleetera obutakola mirimu mirala kuba omuzannyi aba wa njawulo era ebiseera ebisinga akugirwa amateeka ga ttiimu mw’azannyira.

Ky’ova olaba nga mu Bazungu, abazannyi babeera ne bamaneja nga be babatambuliza bizinensi zaabwe. Omuzannyi akozesa maneja emirimu gye ne gitambula era agenda okunnyuka omupiira nga mugagga era asobola okweyimirizaawo. Wano ewaffe, abazannyi beefaako bokka ate nga n’ensasula ya wano mu Afrika mbi nnyo. Nsambye omupiira emyaka 30 miramba naye ne kati nkyabanja Express ng’omuzannyi era ne ngibanja ng’omutendesi ssente ezisoba mu bukadde

6. Mu Uganda, amateeka manafu era owoza n’omuntu alina ssente kale nga kyangu okukuvuluga. Ekirala edda, tetwalinanga ndagaano era ng’abakungu ba ttiimu bakozesa omukisa ogwo okukulyazaamaanya n’okulambuza abazannyi nga basatu poloti nti bw’obwegattako, bajja kugikuwa.

Abamu twerwanako nyo okufuuka kye tuli naye bannaffe bangi bafudde si lwakuba nti tebaalina magezi naye nga ssente tezimala. Nga tosobola kugulako plot n’ozimbamu n’osigazaako z’olyako ng’ate toyiza kukola mulimu mulala elw’empisa z’omupiira. Emyaka ne gigenda, ogenda okwetegereza nga tolina w’oyiza kukola mu myaka 38 ate ng’olina n’abaana, opangisa.

Abazannyi be muwaana kati ne bwe banaagula poloti ne bazimba, bayinza okuzitunda baavuwale kuba ennyumba emu oba bbiri tezisobola kukugaggawaza? Nze nnina enyumba 27 naye era tezimala era ngattako obusomesa naye ate aguze poloti n’ennyumba bbiri nga takyazannya tayinza kumalako.

FUFA erina ekuvaayo n’essaawo SACCO y’abazannyi nga ne bwe bannyuka, balinayo obuyambi ebbali ekitali ekyo, abazannyi bali bubi. Magogo akoze kinene nnyo okugoba abaagusambako ku milimu gyabwe n’abasikiza abato ne yeerabila nti nabo tebalina musingI. georgesimlala@gmail.com 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...