TOP

Tito Okello ne Nsibambi bagobeddwa mu KCCA FC

Added 17th January 2018

OMUTENDESI wa kiraabu ya KCCA FC Mike Mutebi acwanye n’agoba abasambi babiri ababadde batandika ku ttiimu esooka olw’obunanfuusi n’okulya mu ttiimu yaabwe olukwe.

Bya GERALD KIKULWE

Omuzibizi Isaac Muleme n’omuteebi Titto Okello be baalidde mu KCCA FC olukwe bwe baafunye ddiiru z’okugenda okuzannya ppulo wabula bwe baabadde bawaayo ebiwandiiko byabwe eri ttiimu ezaabadde zibatwala, balaze nga bwe batalina ndagaano na ttiimu yonna era bino bwe byagudde mu matu g’omutendesi Mutebi n’azikubamu ne zaaka nga yewuunya obwongo bw’abavubuka bano engeri gye bukolamu.

Mutebi okwogera bino kidiridde KCCA FC okukola amaliri ga ggoolo 2-2 ne Maroons FC mu mupiira ogw’omukwano ku lwokubiri mu kisaawe kya Star Times e Lugogo ezateebeddwa Allan Okello ne Herbert Ocayi ate Solomon Walusimbi ne Pius Obuya ne bateebera Maroons FC.

Eno ye sizoni ya Titto esoose mu KCCA FC wabula bwe yabadde awaayo empapula ezimwogerako yakozesezza za ttiimu ya Mbeya FC okuva e Tanzania Mutebi gye yamugula okulaga nti endagaano ye yaggwaako nti era takyalina ttiimu gy’azannyira wabula ababadde bamwagala okuva mu Buildcom eya Zambia bwe baategedde bino,eby’okumutwala ne babiggyamu enta.

Ate Muleme abadde agenda Misiri wabula naye yabagambye ng’endagaano ye ne KCCA FC bwe yaggwaako wabula abakungu okuva e Misiri bwe bazze okwogerako ne Mutebi beesanze ng’endagaano ye ekyaliko era nga balina okusasula KCCA FC okusazaamu endagaano era kino kyabakubye wala Muleme ne bamuvaako.

Emyaka ebiri emabega,Muleme yeecangira ku SC Villa eyamukuza okuva mu akademe n’agisuulawo ng’endagaano ekyaliko okwegatta ku KCCA FC era ensonga zatuuka mu kakiiko akakola ku nsonga z’abazannyi mu Uganda (Players Status Committee) kuba Villa yali teyagala kumuta ng’endagaano ekyaliko.

Wabula ne mu KCCA FC era akoze ekintu kye kimu.“Kiswaza okulaba ng’abasambi be mbadde ndabamu omulamwa, emitwe gyabwe mikalu era okusinziira bwe baasazeewo okulya mu ttiimu yaabwe olukwe,nange sigenda kuddamu kubasambisa banoonye gye balaga naye nga ttiimu yonna ebatwala erina okusasulira okusazaamu endagaano zaabwe,”bwe yagambye Mutebi.Bano kati beegasse ku Samuel Ssekamatte,Abudallah Muhammed ne Allan Oryeke abagobeddwa banoonye ekibanja awalala.KCCA FC yaakubiru ku kimeeza kya liigi yababinywera n’obubonero 29 mu mipiira 15.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...