
Desabre
Wano abamu ku bawagizi we basinziira okugamba nti Desabre yasaze Bannayuganda n’akunakkuna mbu era omupiira gw’atendeka tegutegeerekeka kuba ttiimu terina sisitiimu nnung’amu kw’ezannyira.
Bano bajuliza nti abatendesi abagwira ababiri be tusembye okubeera nabo, emirimu gya Cranes baagitandika bulungi.
Bobby yatandika na kuwangula Benin (2-1) mu 2008 mu z’okusunsulamu abaazannya World Cup ya 2010 sso nga Micho yatandika na kukuba Liberia (1-0) ne Angola (2-1) mu z’okusunsulamu abaazannya World Cup ya 2014.
Desabre yatandise na kukubwa Zambia (3-1) mu za CHAN n'azzaako ogwa Nambia mwe yakubiddwa (1-0) mu kiro ekyakeesezza eggulo (Lwakutaano) era Cranes n'ewanduka.
Wabula nze Desabre mmulinamu essuubi wadde nga tetukoze bulungi mu CHAN nti ajja kusitula Cranes.
Ennono y’okulumba gye yazze nayo gwe mupiira oguliko ensangi zino okusinga okussaayo bbaasi.
Abatendesi be tubadde nabo gye buvuddeko, babadde 'basomesa' mupiira gwa kuzibira olwo ne beekuuma ggoolo okunywa mu katimba kaabwe.
Babadde bafaayo nnyo okuwangula emipiira okusinga okuzimba ennono emanyiddwa ku ttiimu y'eggwanga.
Desabre okulangirira nti ye wa mupiira gwa kawoowo na kulumba, kimpa essuubi nti ennono ye eno ajja kugitwala mu maaso tufune ttiimu ezannya omupiira ogunyuma okusinga ku mirembe egibaddewo, we tubadde tuzannya ekipiirapiira.
Zambia ne Namibia zaakubye Cranes mu CHAN kyokka wabadde olaba ng’abazannyi batambuza omupiira nga bagenda mu maaso okusinga okwekuumira emabega balinde okuziba ebibangirizi bataase ttiimu obutateebwa.
Ennono ya Desabre eyinza obutakala mangu mu bazannyi ba Cranes kyokka singa banaagimanyiira, kijja kuwa ttiimu y’eggwanga enkizo ku ttiimu z’eneeba ezannya.
FUFA erina okuwa Desbre obudde n’obuyinza obw'enkomeredde okwerondera abazannyi b’alaba nti bagwana okuyitibwa tuve mu by’okumukakaatikako abazannyi olw’omukwano n’ebigendererwa ebirala.
flubega@newvision.co.ug 0705173555