TOP

Jas Mangat awangudde ez'e Mbarara n'awera

Added 29th January 2018

NNANTAMEGGWA wa 2012, 2013 ne 2016 mu mmotoka z’empaka, Jas Mangat, awangudde empaka z’e Mbarara n’alabula abavuzi abalala nti guno omwaka yajjiridde ngule yokka.

 Mmotoka ya Mangat(ku ddyo)

Mmotoka ya Mangat(ku ddyo)

Jas Mangat 1:47:56

Christakis Fitidis 1:54:19

Susan Muwonge 1:54:29

Unissan Bakunda 2:0146

Dr. Ashraf Ahmed 2:03:27

NNANTAMEGGWA wa 2012, 2013 ne 2016 mu mmotoka z’empaka, Jas Mangat, awangudde empaka z’e Mbarara n’alabula abavuzi abalala nti guno omwaka yajjiridde ngule yokka.

Mangat agoba ngule yaakuna mu byafaayo,yenkane ne Charlie Lubega eyaziwangula mu 2001, 2002, 2003 ne 2005.

Wadde abadde amaze omwaka mulamba nga teyeetaba mu muzannyo guno, Mangat yategeezezza nti ku luno waakumalako kalenda era engule agyetaaga.

“Ndi musanyufu nti mbadde mmaze ebbanga nga sivuganya kyokka bwe nkomyewo ne nsobola okuwangula. Kino kindaze nti nkyasobola okusitukira mu ngule y’omwaka era nja kuwaayo buli kimu okulaba nga kituukirira,” Mangat bwe yagambye.

Empaka zino ze zaagguddewo kalenda y’omwaka guno. Nnantameggwa w’omwaka oguwedde, Christakis Fitidis yamalidde mu kyakubiri n’addirirwa, Susan Muwonge eyaziwangula mu 2011.

Empaka eziddako zaakubeera Jinja ku wiikendi esooka mu March.

EMPAKA TEZIWEDDE MIREMBE

Wadde Mangat yasobodde okumalayo enkontana zonna, banne abaamuddiridde tebaakikoze.

Empaka zaabadde za akutambulira ku nkontana 10 kyokka mu lusembayo, Adam Rauf eyabadde addiridde Mangat mu kusimbulwa, yalemereddwa okulumalako mmotoka ye bwe yafiiridde mu kkubo wakati n’eremesa endala okuyitawo.

Kyatutte ebbanga mmotoka ya Rauf okuggyibwa mu kkubo kyokka olw’okuba ezaabadde zigigoberera zaabadde zimaze okusimbula, abategesi baasazeewo olukontana olwo lusazibwemu kuba baabadde tebakyalina ngeri gye babalamu budde.

Ng’amateeka bwe galagira, buli muvuzi eyabadde mu lukontana luno, ng’oggyeeko Rauf, yaweereddwa obudde bwe bumu nga Mangat bwe yakoze.

ABANNENE BAZAASIMUDDE

Empaka zino ezaavugiddwa okumala ennaku ebbiri, zaajooze abavuzi ab’amannya bwe baalemeddwa okumalako. Zaatandise ne Ponsiano Lwakataka ku Lwomukaaga ataasobodde kuvuga wadde kiromita 10.

Okuvaamu kwa Lwakataka kwaddiriddwa okwa Hassan Alwi mu lunaku lwe lumu ng’abavuzi abalala okwabadde Ronald Ssebuguzi, Omar Mayanja, Leila Mayanja ne Adam Rauf tebannavaamu eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...