TOP

Aba Badminton bagenze Busia

Added 20th February 2018

Nga Uganda yeetegekera empaka za Uganda International n’okutwala ttiimu mu mizannyo gya Commonwealth Games mu Australia ab’omuzannyo gwa Badminton (ttena ey’ekyoya) bagugaziyizza bwe bawadde amasomero 20 ebikozesebwa mu buvanjuba bwa Uganda.

Ebikozesebwa mu muzannyo guno okuli obuwujjo obukuba ttena, akatimba okuzannyirwa n’obupiira  bikwasiddwa abasomesa bano mu rigyoni ya Busia nga byakwasiriziddwa ku ssomero lya Busia Border Primary School.

Akulira emirimu mu kibiina kya Uganda Badminton Association (UBA), Simon Mugabi akuutidde abasomers okukozesa ebintu bino okunoonya talanta kubanga zijjudde buli wamu wabula nga zeetaaga kuyigga.

“Eno Pulojekiti ya nsi yonna eyitibwa Shuttle Time ng’eddukanyizibwa mu mawanga 200 mu nsi yonna era nga Uganda lye limu ku go. Twatandika mu 2014 nga kitusanyusizza okulaba nti twafunye abawanguzi mu mpaka za Classic Books Schools Tournament ab’emyaka 10 nga baavudde Mbale era nga bayitidde mu pulojekiti eno,” Mugabi bw’ategeezezza.

Amasomero kati gaweze 41 omwezi guno agakwasiddwa ebikozesebwa bya Shuttle Time ng’amalala gaavudde mu massekkati ga Uganda ng’ebyabwe baabifunidde Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.